TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri okusiba obusungu n'ozibya olunaku bwe kyonoona ekisiibo kyo

Engeri okusiba obusungu n'ozibya olunaku bwe kyonoona ekisiibo kyo

Added 13th March 2019

Engeri okusiba obusungu n’ozibya olunaku bwe kyonoona ekisiibo kyo

 Ordinard Augustine Kayemba mu kusaba.

Ordinard Augustine Kayemba mu kusaba.

ABAKRISTAAYO babuuliriddwa okusaba n'okusiiba basobole okuwangula embeera zonna ze bayitamu enzibu kubanga waliwo embeera ezitasobola kuvaawo nga tebayise mu kusaba na kusiiba.

Ordnard Augustine Kayemba bwe yabadde abuulirira Abakristaayo mu kusaba okw'ekisiibo mu kkanisa ya St. Mathew Bbira ku lw'e Mityana yabuuliridde Abakristaayo nti waliwo ebintu bisatu bye balina okugoberera nga bali mu kiseera eky'okusaba n'okusiiba nga balina okusooka okumanya ensonga lwaki balina okusiiba na kiki kye basiibira.

Yagambye nti abantu abamu basiiba obutalya mmere wabula kino tekikoma mu kusiiba mu mubiri wabula balina okukuuma emwoyo gyabwe nga mirongoofu nga buli kye bakola kirongoofu mu mwoyo ne mu mubiri.

Agamba nti tebalina kukoma ku kwerumya njala kyokka ate ng'emwoyo gyabwe si mirongoofu.

Mu kusiiba mulimu okweyambulako obulimba nga buli mukkiriza yeewala okulimba mu maaso ga Katonda kubanga okulimba kufugibwa sitaani era buli mulimba kitaawe ye sitaani n'olw'ensonga eyo abakkiriza bonna abeenyigira mu kisiibo balina okwogera amazima baleme okwonoona ekisiibo kyabwe. lYakubirizza Abakristaayo okwewala okusunguwala mu kisiibo n'agamba nti waliwo abantu abamu abasunguwala ne boo-noona olw'obusungu bwe babeera balina.

Yagambye nti omuntu bw'asunguwala enjuba terina kugwa ng'akyalina obusungu era kino kyawandiikibwa mu kitabo kya Isaaya 58.

Yannyonnyodde nti ekiseera kino kya kumenyeka buli mukkiriza alina okumenyeka mu maaso ga Mukama ne yeekutulako ebyo byonna ebiyinza okumusuula mu kwonoona era kiseera kya kusumulukuka na kusumulula ebyo byonna ebyasoba kino kisangibwa mu kitabo kya Abefeeso 4:24.

Yayongedde n'abuulirira Abakrisitaayo nti Bayibuli esomesa abantu abali mu kisiibo okukola ebirungi n'emikono gyabwe. lMu kisiibo era Abakristaayo balina okufaayo okugabira abo bonna abatalina, Mukama asobole okubaddiza era n'okubongera emikisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sebaggala ng’annyonnyola.

Seya bye yalese abuulidde B...

NASSER Ntege Sebaggala bwe yabadde tannaweebwa kitanda mu ddwaaliro gye yafiiridde yayogedde ne Bukedde. Abasasi...

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa