
Jimmy Abubakari omutuuze era muliraanwa wa Steven Muchoro yategeezezza nga ku ssaawa 4:00 ez'ekiro bwe yawulidde Muchoro ng'awera nga bwe watalina kubeerayo muntu yenna eyeetantala okulinnya ekigere mu maka ge.
Yabadde alwanagana ne mukyala we Maureen Nekesa 22.
Abubakari yategeezezza nga Steven Muchoro 25 bwe yalwanye ne mukyala we okumala eddaakika 30 ekyawaliriza muganda wa Muchoro ayitibwa Mayera okuluyingiramu abatawulule n'amukuba ettoofaali n'amutta.
Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kiyunga mu disitulikiti y'e Buikwe.