TOP

Kulannama alaze omusajja omulala

Added 14th March 2019

‘SHA.., wali olabye embuzi egaana omuguwa?’ Ekyaddiridde yabadde nduulu okuva mu bantu abangi abaabaddewo nga Ssenga Kulannama alangirira nga bw’ali mu laavu ne Jjumba Aligaweesa nga y’akulira eddiini y’obutonde n’obuwangwa.

 Kulannama ng’ayanjula olukiiko lw’abasamize b’agenda okukola nabo. Kulannama ne Aligaweesa nga beekuba obwama.

Kulannama ng’ayanjula olukiiko lw’abasamize b’agenda okukola nabo. Kulannama ne Aligaweesa nga beekuba obwama.

Aligaweesa ye yasoose okutegeeza abantu abaabadde abangi nti ye ne Kulannama ng'amannya ge amatuufu ye Kezia Kulannama balina we batuuse mu bya laavu era balinde embaga ey'ebyafaayo.

Bwe yamaze okwogera, abantu abaabadde tebategedde beekanze Kulannama amuggyeeko akazindaalo n'agamba nti; "Kantangaaze ku Jjumba by'ayogedde, wali olabye embuzi egaana omuguwa? Kati nze akulira abasawo bagende bandabe nga nfubutuka mu loogi!

Bw'aba by'ayogera abitegeeza, ajje alabe maama wange ne bannyinaze abawe ebyabwe kubanga nange nnina okuba n'ekyana ku lusegere ate nga n'empeta kw'eri. Bwe wabaayo mugya wange, anyweze gomesi, awo mba nnyingiddewo.

DJ sooka ompe ku kayimba kange awo". Kulannama bwe yagambye.

DJ yasuddemu oluyimba lwa Kisumuluzo olwa Diana Nalubega olwo Kulannama ne Aligaweesa ne basala ddansi abantu ne bakuba enduulu n'ebyabaleese ne basooka babyerabira.

Baabadde Mutungo-Kigo awali ekkolero lya Kulannama erya Kulannama Herbal ku Lwokusatu, omukyala oyo bwe yabadde ayanjula olukiiko lw'agenda okukola nalwo ng'akulembera abasawo b'ekinnansi ab'ebibiina 13 ebyamulonda ku Bwapulezidenti wabula omukolo bwe gwasemberedde okuggwa, ebya laavu ne biyingirawo.

Mu kusooka ku mukolo ogwetabiddwako ne Jjajja Bujagaali okuva e Busoga nga kwabaddeko n'abayimbi b'ennyimba z'eddiini y'obuwangwa ne Evelyn Lagu, Kulannama yategeezezza nga bw'agenda okutandika n'okugaba bbasale era ategese ekivvulu e Wankulukuku mw'agenda okutandika okugya ssente ezikola ekyo n'okuzimba ofiisi z'abasamize n'eddiini y'obuwangwa e Bwebajja.

Aligaweesa nga ye yakulembera eby'okulayiza Kulannama, yategeeza ku mukolo ogwaliwo omwezi oguwedde nti, Kulannama tayinza kubeera na musajja atali wa ddiini ya byabuwangwa ate ng'atikkiddwa ekitiibwa kya Nabbona akulira eby'ekisamize.

Enkeera, Kulannama yayawukana ne Abdul Lubega gwe yawasa mu 2017 era yalaze n'engalo okutali mpeta n'agamba nti Lubega yamutalase.

Yategeeza nti ye yava mu ddiini y'Obusiraamu ate Lubega n'agiremeramu. Aligaweesa yamuggyeko akazindaalo n'agamba nti embaga egenda kubaawo bunnambiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...