TOP

Bukedde ttivvi eneekola bulungibwansi e Wakiso

Added 14th March 2019

Emikolo emikulu gyakubeerawo ku Lwomukaaga nga March 30,2019, okutandika ku makya n’okugaba ebintu ku ddwaaliro lya Wakiso Health Centere IV n’oluvannyuma giggweere ku kisaawe kya Uganda Clays e Kajjansi.

 Dorah Naamala (ku ddyo) ne Betty Nabuganda nga batongoza Bulungibwansi.

Dorah Naamala (ku ddyo) ne Betty Nabuganda nga batongoza Bulungibwansi.

 

TTIVVI ya Bukedde esabuukuludde enteekateeka yaayo ey'okukola Bulungibwansi nga ku mulundi guno yaakuyindira mu disituliki y'e Wakiso. Enteekateeka eno yatongozeddwa avunaanyizibwa ku by'okutumbula Ttivvi ya Bukedde, Dorah Naamala ku kitebe kya Vision Group mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo ku Mmande ya wiiki eno.

Ku mulundi guno essira ligenda kuteekebwa ku by'obulamu by'abakyala n'abaana kubanga be basing okukosebwa olw'endwadde ezitali zimu. Eddwaaliro lya Wakiso Health Centre IV lye lyalondeddwa okuyambibwako mu nteekateeka eno, olw'abantu abangi abalikozesa.

Amyuka akulira eby'obulamu mu disitulikiti y'e Wakiso, nga y'avunanyizibwa ku by'obulamu by'abakyala abazaala n'abaana, Betty Nabuganda yategeezezza nti eddwaaliro lino lirina okusoomozebwa kw'omujjuzo, ekireetera ebikozesebwa n'abasawo okubeera abatono. Agamba nti buli lunaku lifuna abalwadde wakati wa 1,200 ne 1,500 abajja okufuna obujjanjabi ne baddayo awaka.

Kuno kwegattibwako abalala wakati 20 ne 30 abasigala ku bitanda. Abaana ab'okugema buli lunaku bafuna abali wakati wa 200 ne 300, nga kino yagambye nti kifuula omulimu okuba omukalubo olw'ebikozesebwa obutamala.

Nabuganda era yategeezezza nti eddwaaliro lino buli mwezi lizaalisa abakyala abali wakati wa 250 ne 300 nga bano bazaala bulungi ne badda awaka, wabula ng'abokulongoosa babeera wakati wa 25 ne 30.

Agamba nti kuno kusoomozebwa kwa maanyi kubanga mu ddwaaliro mulimu ebitanda 18 byokka ng'abalongoosebwa baabawaako munaana ate abasindika 10. Olw'abakyala okubeera abangi, kibawaliriza okusiibula abamaze okuzaala ng'essaawa 24 eziragirwa tezinnaggwaako n'abalala basobole okukolebwako.

Yannyonnyodde nti abakyala bano abamu bajja tebalina bibayambako mu kuzaala ate nga eddwaaliro nalyo lirina bitono ekibateeka mu kusoomozebwa okw'amaanyi.

Yayongeddeko nti abalwadde ba siriimu abasoba mu 3,000 be bajja okufuna obujjanjabi ku ddwaaliro lino buli lunaku, kwossa n'abawala wakati w'emyaka 15 ne 19 abajja okufuna obujjanjabi n'okubudaabudibwa olw'okufuna embuto nga bakyali bato.

Olw'omujjuzo ogubeera ku ddwaliro lino, ebimu ku bibasoomoza mulimu entebe ezituulwako okubeera entono, ebikozesebwa mu kujjanjaba, kaabuyonjo, ebitanda n'ebirala.

Yeebazizza Bukedde Ttivvi olw'okuvaayo okubadduukirira n'asaba n'abazirakisa abalala okulabira ku Bukedde baveeyo bayambeko eddwaaliro lino.

Naamala yategeezezza nti emikolo emikulu gyakubeerawo ku Lwomukaaga nga March,30th,2019, okutandika  ku makya n'okugaba ebintu ku ddwaaliro lya Wakiso Health Centere IV n'oluvannyuma giggweere ku kisaawe kya Uganda Clays e Kajjansi.

Yagambye nti eno waakubeerayo ebintu bingi omuli okugema abaana, okukebera omusaayi n'endwadde endala, okusomesa ku nkola ya Kizaalaggumba, okukomola abaami, okugaba empeke z'ebiwuka, abasawo abakugu okusomesa ku ndwadde ezitali zimu n'ebirala bingi.

Yakunze abantu b'omu Wakiso okweyiwa mu bungi ku kisaawe kino basobole okuganyulwa mu nteekateeka z'ebyobulamu ezinaabeerawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Ahaji Nasser Sebaggala ng’awerekerwa abapoliisi ekkakkanya obujagalalo bwe yali ava ku kisaawe e Ntebe mu 2003.

Eng'ombo ze yaleeta mu Kampala

Seya: Bwe yeesimbawo ku bwa mmeeya wa Kampala mu 1997, yatandikaokulya emmere mu butale naddala mu Owino ng’agamba...

Nasser Ntege Ssebaggala ng’alaga omumyuka wa ssentebe wa NRM, Moses Kigongo akabonero k’obuwanguzi, wabula abaali bamuvuganya mu kiseera ekyo baakitaputa nti alaga P2 ekibiina mwe yakoma okusoma. Byaliwo mu 1998.

Ebigambo bya Seya ebinaamuj...

Bino bye bimu ku bigambo ebikyamujjukirwako:

Sebaggala ng’annyonnyola.

Seya bye yalese abuulidde B...

NASSER Ntege Sebaggala bwe yabadde tannaweebwa kitanda mu ddwaaliro gye yafiiridde yayogedde ne Bukedde. Abasasi...