TOP

Omuvubuka akakkanye ku muganda we n'amutta.

Added 14th March 2019

Ekikangabwa kigudde ku kyalo Kiyunga mu divizoni y’e Wakisi munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe Steven Muchoro 25 bwakkakkanye ku muganda we Peter Mayera 22 n’amutta. Kati Muchoro aliira ku nsiko ne mukyala we.

BYA EMMANUEL BALUKUSA
 
Ekikangabwa kigudde ku kyalo Kiyunga mu divizoni y'e Wakisi munisipaali y'e Njeru mu disitulikiti y'e Buikwe Steven Muchoro 25 bwakkakkanye ku muganda we Peter Mayera 22 n'amutta. Kati Muchoro aliira ku nsiko ne mukyala we.
 
Obutemu buno bwabaddewo oluvannyuma lwa Mayera okujja ewa Muchoro okubataawuluza mu lutalo ne mukyala we, Maureen Nekesa 22.
 
Jimmy Abubakari omutuuze yategeezezza nti obwedda Muchoro yeewerera oyo yenna anagezaako okuyingira mu nsonga zaabwe eza maka.
Mayera bwe yatuuse okubataawuluza Muchoro yakutte ettoffaali n'alimukuba mu kifuba nagwa ku ttaka.
 
Taata w'omugezi, Richard Kisoro yagambye nti baayise omusawo okuyamba ku Mayera naye we yatuukidde ng'afudde.
 
Yafeesi Massa omu ku batuuze yagambye nti obutemu buno buvudde ku bantu bano kukozesa bitamiiza.
 
Mu kiseera kino adduumira poliisi y'e Njeru Christopher Ruhunde yagambye nti batandise omuyiggo ku Muchoro ne mukyala we Nekesa.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...