TOP

Museveni ayogedde ku bya Rwanda okuggala ensalo

Added 15th March 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti amawanga ga Afrika okuggala ensalo okulemesa amalala okutambuza ebyobusuubuzi akigeraageranya ku muntu okweyimbamu omuguwa ne yeetuga.

 Pulezidenti Museveni ne munne Kagame owa Rwanda

Pulezidenti Museveni ne munne Kagame owa Rwanda

Yabadde ayogera mu kuggalawo olukuhhaana lwa ‘Africa Now Summit 2019' ku Lwokusatu n'ategeeza nti amawanga agamu okuggala ensalo okulemesa okutambuza ebyobusuubizi kya bulabe nnyo kubanga kiremesa ebyamaguzi okutuuka mu katale ekivaako ebyobusuubuzi okukonziba.

Yasabye abakulembeze b'amawanga ga Afrika okuggyawo emiziziko egy'engeri eyo ku nsalo z'amawanga ge bakulembera.

Yawadde ekyokulabirako nti mu 1986 bwe yali yaakajja mu buyinza, waliwo abaamuwa amagezi aggale ensalo ya Uganda ne Kenya n'akigaana.

Baamubalira ekibalo nga Kenya eyingiza mu Uganda ebyamaguzi bya bukadde bwa ddoola za Amerika 200 kyokka nga Uganda esobola okutunda e Kenya ebyamaguzi bya bukadde bwa ddoola 12 bwokka.

Yagambye nti yakigaana kubanga kikotoggera enkulaakulana ya Afrika.

Yagambye nti engeri yokka ey'okutumbula n'okunywezaamu enkulaakulana Afrika gy'etuseeko, kwe kuggyawo emiziziko ku nsalo abasuubuzi ne basobola okwegazaanya nga batambuza ebyamaguzi okusukka ensalo z'amawanga basobole okweyagalira mu katale akagazi.

Wabula Pulezidenti Paul Kagame bwe yabadde ayogera wiiki ewedde yategeezezza nti embeera eri ku nsalo z'amawanga okusinziira ku ye si kizibu ekiyinza n'okuvaako olutalo.

Yagambye nti ye mwetegefu okuteesa era yasabye Pulezidenti Museveni akkirize era naye ammuddize omukwano n'ategeeza nti Rwanda si mulabe wabula mukwano gwa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sobi

Sobi ayogedde lwaki alondoo...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu bwe yabadde e Bundibugyo, yalengezza abawagizi be mmotoka ya poliisi n'abagamba: mmotoka...

Nakimbugwe naye yajjuzza.

Ekinyegenyege kya Gabula ki...

ABAAMI ba Kabaka mu Lubaga okuli oweggombolola, abeemiruka n'abatongole beetabye mu kazannyo ka Gabula Ssekukkulu...

Bobi Wine ng'azina mu lukungaana e Bundibugyo.

Amasasi nga Bobi ayingira K...

OLUKUNG'AANA lwa Bobi Wine e Kasese lwabaddemu amasasi ne ttiyaggaasi ng'abaamagye ne poliisi bagumbulula abawagizi...

Omugenzi Muwanga Kakooza

Bakungubagidde Kakooza owa ...

MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Daniel Muwanga Kakooza, aziikiddwa e Ssanga mu ggombolola y'e Gombe ku lw'e Semuto. ...

Biden ne Trump

Trump apondoose; amagye gat...

AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump...