TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'amagombolola musasule obusuulu bw'ebizimbe - Mayiga

Ab'amagombolola musasule obusuulu bw'ebizimbe - Mayiga

Added 17th March 2019

Ab’amagombolola musasule obusuulu bw’ebizimbe – Mayiga

 Katikkiro Mayiga ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’ebyobufuzi mu Buganda okuli bassentebe ba disitulikiti, amagombolola,

Katikkiro Mayiga ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’ebyobufuzi mu Buganda okuli bassentebe ba disitulikiti, amagombolola,

KATIKKIRO wa Buganda Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze b'amagombolola ne disitulikiti ez'omu Buganda n'abajjukiza ebbanja ly'ensimbi ez'obusuulu bw'ettaka disitulikiti ze zibanjibwa olw'okukolera mu bizimbe eby'Obwakabaka n'agamba nti gye bakoma okulwawo okusasula ng'ebbanja lyetuuma ate nga zaakusasulwa.

Abakulembeze bano kwabaddeko aba disitulikiti, amagombolola, abakulira abakozi n'abakubiriza b'enkiiko mu Buganda ng'omukolo gwabadde ku kizimbe Muganzirwazza e Katwe mu Lubaga ku Lwokuna.

"Mu 2013 Kabaka ne Pulezidenti Museveni baateeka omukono ku ndagaano eyakomyaawo ebintu by'Obwakabaka. Embuga z'amasaza n'amagombolola bya Bwakabaka noolwekyo mwe aba disitulikiti abakolerako emirimu mbakubiriza musasule ensimbi z'obupangisa, olaba gavumenti eya wakati esasula!," Mayiga bwe yakkaatirizza.

Katikkiro yeebazizza abakulembeze ba disitulikiti olw'okuwagira emirimu gy'Obwakabaka era ne yeebaza ey'e Wakiso olw'okutuukiriza byonna ebiri mu ndagaano eyakolebwa mu 2013.

Ekya Wakiso, omwami w'essaza ly'e Busiro erikola ekitundu ku disitulikiti eno, Charles Kiberu Kisirizza yagambye nti esasula obupangisa ssaako n'obutakaluubiriza bannansi ku nsonga y'okufuna ebyapa. "Ekiseera ky'akalulu bwe kiggwa, eby'obufuzi mulina okubireka olwo ne mukulembeza obukulembeze. Kino kitegeeza abantu bonna obatwalira wamu.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Butambala, Bavekuno Mafumu Kyeswa yasabye Obwakabaka boogerezeganye n'ababaka ba Palamenti, bateeseze Buganda efune pulojekiti ennene ng'eziteekebwa mu bitundu ebirala n'alaga obwennyamivu nti mu kiseera essira ababaka balitadde ku kulowooleza bibiina byabwe bya bufuzi.

Ate Minisita omubeezi owa Gavumenti ez'ebitundu, Joseph Kawuki yategeezezza nti ensisinkano bwe ziti zaakubeerangawo ng'Obwakabaka busisinkana n'ababaka ba Palamenti wamu n'abakulembeze ku mitendera emirala. "Ensonga y'ettaka yonna mu bitundu byammwe mulina okukolagana ne Buganda Land Board ate ezo ezikwata ku bizimbe musaanye okukwatagana n'ekitongole kya Namulondo Investments. Ng'obwakabaka tetukolagana na bantu abakozesa erinnya ly'obwakabaka okutunda ettaka era kino buli lwe mukifina,mukirooperewo," Kawuki bwe yagambye.

Ye Ssentebe wa bassentebe ba disitulikiti za Buganda ezisukka 20, Andrew Ssenyonga nga yakulembera Mukono yagambye nti beetegefu okusasula ensimbi z'obupangisa, okwetabanga ku mikolo gy'Obwakabaka, ate n'okutambulira wamu n'enteekateeka z'obwakabaka zonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...