TOP

'Abasajja mukomye okukuba abakyala

Added 17th March 2019

‘Abasajja mukomye okukuba abakyala

 Bp. Tamale ng’asabira abamu ku baana abaateereddwako emikono.

Bp. Tamale ng’asabira abamu ku baana abaateereddwako emikono.

OMULABIRIZI wa West Buganda Diocence, Bp.Tamale Katumba alabudde abasajja okukomya okukuba n'okutulugunya abakazi kye yagambye nti kijja kuyambako mu kumalawo obusambattuko mu maka. " Abasajja ebitundu 86 ku buli 100 bava mu birabo by'omwenge ne bakuba abakazi olw'obusongasonga n'ekiva mu kino abooybuyinza kubakwata ne babasiba.

Kale eggwanga linaggwamu litya ebikolwa nga bino ng'emiggo mugikuba bakyala bammwe nga n'abaana balaba? Nsaba ssentebe Mutabaazi kibooko aziwewenyule abasajja abakeeera mu birabo by'omwenge nabo n'abo abatimpula bakyala baabwe," Bp Tamale bwe yategeezezza.

Okwogera bino asinzidde mu kusaba ku kkanisa ya Nampongerwa C/U ng'ateekako abaana 25 emikono. Mu ngeri yemu alagidde abasomesa okugoba abayizi abatalya kyamisana ku masomero kiwe abazadde eky'okuyiga nti amagezi ,obulamu n'okutegeera biva mu kulya era n'alabula n'abakulembeze obutageza kulemesa basomesa omuyiggo guno.

Bp.Tamale akubiriza n'abazadde okuzaala abaana be basobola okulabirira kikendeeze ku bungi bw'abaana abatayaaya ku nguudo. Yabasabye n'okukuliza abaana baabwe mu ddiini

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...