
ABABAKA ba NRM abali mu lusirika e Kyankwanzi nabo bawagidde Pulezidenti Museveni okusigala ng'akulembera ekibiina kino n'eggwanga okutuuka mu 2021 n'okweyongerayo!.
Akakiiko ka NRM akafuzi (CEC) akaatuula mu woteeri ya Chobe mu kuumiro ly'ebisolo erya Murchision Falls ke kaasooka okuyisa ekiteeso ekigaana Pulezidenti Museveni okuvuganyizibwa mu kusunsula abagenda okukwatira ekibiina kino bendera mu kulonda kwa 2021.
Ab'akabondo k'ababaka ba NRM mu palamenti kino bakituseeko oluvannyuma lwa Ssabawandiisi w'ekibiina Justine Kasule Lumumba okwogera gye bali ku mulamwa: ‘'Enteekateeka za NRM ez'okwetegekera 2021'' era n'abasomera ebyasalibwawo akakiiko ka CEC omwali ekya Pulezidenti Museveni obutavuganyizibwa mu kusunsula abanaakwatira ekibiina bendera y'okuvuganya ku bwa pulezidenti bw'eggwanga.
Ekiteeso ekyaleteddwa omubaka w'abalema Hellen Asamo eyategeezezza nti ‘'Uganda yetaaga nnyo Pulezidenti Museveni kati n'okusinga ebiseera ebiyise olw'obukulembeze obulungi''.Era ababaka basizza kimu nga nkuyege ne kiyisibwa,okusinziira ku w'ebyamawulire mu ofiisi ya Ssabawandiisi w'ekibiina , Rogers Mulindwa.
Ekiteeso kisigadde kutwalibwa mu ttabamiruka wa kibiina era bwe kinaayita ababadde baagala okuvuganya Pulezidenti Museveni mu kusunsula abanakwata bendera y'obwa Pulezidenti nga banuuna ku vvu.
Mu kusooka eggulo, Pulezidenti Museveni, mukazi we Janet n'abali mu lusirika beetabye mu kusaba okwakulembeddwa Omulabirizi w'e Mityana Dr Steven Kaziimba eyabuulidde ku mulamwa gw'okumanya Katonda mu kifo ky'abantu okwemanya bokka.Museveni yawerezza obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter nti : ‘'Kirungi okumanya Katonda kuba w'ataba ebintu biyinza okuba ebizibu.Enkolagana y'omuntu terina kuba wakati we (omuntu) n'omusumba wabula wakati w'omuntu ne Katonda.Bannaddiini bayamba kukwatagananya muntu na Katonda. Era ne mu bukulembeze omuntu alina okuba ne Katonda.''