TOP

Carol Nantongo ssente za vidiyo zimuwuuba

Added 18th March 2019

ABAYIMBI Carol Nantongo owa Golden Bandi ne Sheebah Karungi gye buvuddeko baafulumizza oluyimba ‘Sirwana’ nga balaga engeri gye batebuse abasajja.

Oluyimba luno lukubiriza abakazi okuva ku nkola y'okulwana ne baggya baabwe kubanga tebalina musango era si be bakwana abasajja kyokka ne bagamba abakyala nti laavu kazannyo omusajja bwaweta ekkoona ng'olwo bategeeza okwenda nga naye yeeyiiya nga benkanya evvumbe.

Bagamba nti omukazi bw'aba yeetaaga omusajja ng'ate bye yeetaaga tabimuwa buli lw'abimumma afunirawo amubudaabuda okweggyako situleesi.

Wabula agava e Makindye ge ga Nantongo okutuula obufoofoofo n'okusiiba ng'atetenkanya okufuna ssente z'okukola vidiyo y'oluyimba luno lwongere okutambula mu bantu kubanga lutandise okumukolera.

Owoolugambo waffe atugambye nti maneja wa Golden Bandi, Musa Kavuma bino olwamugudde mu matu n'alengera ddiiru. Amulagidde okunoonya omuntu gwe bagenda okukola naye vidiyo amubuulire buli ekyetaagisa n'oluvannyuma amutwalire bbiiru alabe engeri gyamuyambamu.

Carol Nantono alina ennyimba nga ‘Ontuuka', Kamese tambula, Misumaali, Tukiggale n'endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...