TOP

Bobi Wine asattira lwa bamusengula

Added 19th March 2019

OMUBAKA Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) n’abatuuze abalala 400 e Kamwokya basattira nnannyini ttaka abagobye n’abalagira nti baggyeko buli kyabugagga kye baazimbako nti baabissaako mu bukyamu tabamanyi.

 Bobi Wine (wakati) ne Julius Kateregga (ku ddyo) eyawangudde e Ma

Bobi Wine (wakati) ne Julius Kateregga (ku ddyo) eyawangudde e Ma

Agambibwa okuba nnannyini ttaka lino yawadde Bobi Wine ne batuuze banne abalala ennaku musanvu ng'asenguddewo kalina ye okuli amaduuka ne situdiyo gye yatuuma Ssemakookiro Plaza e Kamwokya mu Kampala.

Abatuuze n'abakulembeze mu kitundu bamwanukudde ne bamulabula nti abagendeko mpola wadde nnannyini ttaka naye bw'atagoberera mitendera ayinza n'okulifiirwa.

Meeya wa Kampala Central, Charles Musoke Sserunjogi naye omutuuze mu kifo ekyo yategeezezza nti tewali tteeka wadde ekiragiro ekisengula bannannyini mayumba n'ebibanja mu bbanga lya nnaku musanvu.

"Oyo mutaka ki agoba abantu mu nnaku musanvu. Nga tetubimanyi ate ng'ebyalo by'ayogerako bikubyeeko abatuuze abalina amayumba ag'obuwangaazi. Tetusobola kukkikiriza era ensonga mmulabula nti azikwate mpola" Sserunjogi bwe yagambye.

Ekiragiro omutaka Daudi Ssenfuma yakiyisizza mu balooya be aba Lubega - Matovu and Co. Advocates.

Mu bbaluwa ya bannamateeka bano gye yawandiikidde Bobi Wine n'abatuuze abalala 400, yalagidde nti ettaka lye limalayo Zooni ssatu okuli Kisenyi (Ghetto) Zooni, Old Kira Road ne Mulimira Zooni.

Ebbaluwa eragidde Bobi Wine nti yagula mu bukyamu ettaka eryo mu mwaka gwa 2011 ku mukyala Gladys Nanyonga nga kuliko ennyumba enkadde n'azimbako empya eyitibwa Ssemakookiro Plaza.

Robert Kyagulanyi eyasangiddwa eggulo ku kizimbe kye kino, yagambye nti tagenda kusooka kwogera biwanvu nga tali na batuuze era leero (Lwakubiri) ayise olukiiko lw'abatuuze bonna abakwatibwako ababuulire ekiriwo.

Yategeezezza nti tebasobola kupapizibwa lwa nsonga za ttaka. Muganda we, Fred Nyanzi yeebuuzizza nti omutaka oyo yali ludda wa nga bagula, bazimba n'okukulaakulanya ekifo kyonna n'agamba nti ebyo byandibeeramu ebyobufuzi.

Moses Kiggundu looya wa Ssenfuma yagambye nti bino tebiriimu byabufuzi wabula bwannannyini n'agattako nti baasisinkanako Bobi Wine ne bamutegeeza ne batuuze banne ku nsonga zino kubanga bonna abali ku ttaka nti tekuli alina kyapa.

Ekiragiro kino we kyajjidde nga Bobi Wine akyali mu ssanyu ly'abavubuka ba People Power babiri abaawangudde okukulira abayizi e Makerere.

Mu kafubo Bobi Wine ke yabaddemu n'abayizi abaavudde e Makerere ne bamusisinkana mu maka ge e Magere ku Lwomukaaga yasanyuse okulaba ng'omuwanguzi w'obukulembeze bw'abayizi (Guild President) Julius Kateregga yabadde awerekeddwako eyamuddiridde Joshua Mukisa nga bombi baabadde ba kisinde kya People Power.

Mu kulonda okwabaddewo ku Lwokutaano Kateregga yafunye obululu 3,912 n'addirirwa Mukisa eyafunye 3,365.

Yasabye bannabyabufuzi ku mitendera gyonna okutandika okwolesa ebyobufuzi eby'ekikulu nga balabira ku bayizi be Makerere abaagaanye obululu okubaawula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...