TOP

Gavt. egenda kusuumusa eddwaaliro lya Mukono

Added 19th March 2019

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine akakasizza nga gavumenti bw’eri mu kukola enteekateeka ez’okulaba ng’esuumusa omutindo gwa Mukono Health Centre IV esobole okutuuka ku mutendera gw’eddwaaliro eddene.

 Dr. Atwune (ow’okubiri ku kkono) ng’ali n’abakungu abalala nga balambula eddwaaliro.

Dr. Atwune (ow’okubiri ku kkono) ng’ali n’abakungu abalala nga balambula eddwaaliro.

Dr. Atwine yategeezezza nti mu kiseera kino bakola ku ky'okulaba nga bazimbawo ebizimbe ebirala omunajjanjabirwanga abalwadde kuba mu kiseera kino ebiriwo tebimala.

Yategeezezza nti era bakola ne ku ky'okulaba ng'eddwaaliro lino balyongeramu ebyuma ebimala ate eby'omulembe n'abasawo kuba era abaliwo tebamala okusinziira ku muwendo gw'abalwadde abagenda mu ddwaaliro lino okufuna obujjanjabi.

Bino Atwine yabituuseeko mu mboozi ey'akafubo ne Bukedde bwe yabadde mu kulambula eddwaaliro lino n'abakungu abalala okuva mu minisitule y'ebyobulamu wiiki ewedde. Yagambye nti ebbanga ddene ng'abakulira eddwaaliro lino n'abakulembeze ku munisipaali y'e Mukono babategeeza nga bwe likola ku balwadde abangi ennyo ekyabaleetera nabo okwesitukiramu okugenda okulaba oba ebyali bibagambibwa bituufu.

"Twasooka okujja wano omwaka oguwedde naye kwe twasangawo nga tekikkirizika. Abalwadde nga bangi nnyo ekigenze ewala okuviira ddala ku bakyala abazaala, abajja okunywa eddagala, okugemesa abaana n'abalwadde abalala. Y'ensonga lwaki twasitukiramu okulaba nga waliwo omulimu ogutambula mu kiseera kino," Atwine bwe yagambye.

Wabula yalaze okunyolwa olw'omulimu gw'okuzimba ekizimbe ekigenda okuba ekya kkalina omunajjanjabirwanga abalwadde ku ddwaaliro lino ogwatandikibwako omwaka oguwedde ogukwatiddwa akasoobo kye yagambye nti kikyamu.

Yategeezezza nti nga gavumenti buli kiseera babaako emirimu gye bateekateeka okukola mu kiseera ekigere ng'emirimu ng'okuzimba ekizimbe kino bwe gikwatibwa akasoobo kibaleetera okugivaako ate ne kikosa abantu abandibadde bafuna obuweereza nga kiwedde mu kiseera ekituufu.

Ye akulira ebyobulamu, Dr. Anthony Kkonde yagambye nti omuwendo gw'abalwadde gwe bafuna mu ddwaaliro lino buli lunaku guli waggulu nnyo ekireetera n'eddagala eribaweebwa okuggwawo mu kiseera ekitono ennyo.

Olw'embeera eyo, Dr. Kkonde yagambye nti ebiseera ebisinga beesanga ng'abalwadde abaggya ng'eddagala teririiwo babalagira okwegulira eddagala ne babajjanjaba okusinga okubagoba obugobi bagende okutuuka nga bafunye eddagala.

Omwaka ogw'eby'ensimbi 2015-16 twakola embalira ya bukadde 327 ne batuwaako 85, 2016-17 twakola ya bukadde 388 ne batuwaako 85, ate 2017-18 twakola ya 438 twafuna 47 bwokka, 2018-19 twakola 451 ne tufunako 84. Embeera y'eyo, ebyetaago bingi naye ensimbi tufuna ntono nnyo," Kkonde bwe yannyonnyodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...