TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama eyatta abaana be ababiri ayimbuddwa abatuuze ne batabulwa

Maama eyatta abaana be ababiri ayimbuddwa abatuuze ne batabulwa

Added 19th March 2019

Maama eyatta abaana be ababiri ayimbuddwa abatuuze ne batabulwa

Omukazi eyasala abaana be ng'embuzi, emirambo n'agyebasa mu kisenge ky'ennyumba ya taata we (Jjajja w'abaana) yamazeeko abatuuze b'omu kibuga ky'e Kamuli ebyewungula, bwe yakomyewo ku kyalo nga yeekaaliisa nga bw'akubira abatuuze ka ‘jjambo.' Kasifa Nakato Kayima ye yeekaalisirizza mu nguudo z'ekibuga ky'e Kamuli n'aleka abantu nga bawuniikiridde nga beebuuza kwe baasinzidde okumuyimbula.

Nakato 28, eyasala abaana be Muhamad Waibi 4 ne Ashraf Mukoza 2, obulago mu 2016. Yeekaalisizza mu nguudo eza zooni y'e Industrial Area n'eye Busekiti mu Southern Division nga bw'awuubira abatuuze, olwo n'ayolekera ewa mutoowe e Busekiti.

Eyo teyabandaddeyo n'akozesa ekkubo lye limu nga bw'asiibula abaali baliraanwa be nga kw'atadde n'okubasuubiza nga bw'agenda okuddayo.

ETTEMU YALIKOLA MISANA TTUKU Nakato yaggya abaana ku Bright Future Infant School n'abatwala ewa jjajjaabwe (amuzaala), Hajji Yasin Kayima mu Mulamba Zooni, n'abasala ng'embuzi. Yalimba abasomesa nti abatwala kumira makerenda g'omusujja ne babamuwa kyokka nga yali agenda kubatta.

Ettemu yalikola yeetegese bulungi kubanga nga wabulayo olunaku lumu abatte, yatwala ekiso n'akiwagala bulungi, enkeera n'atuukiriza ‘misoni' ye. Olw'amala okubatta n'adduka nga poliisi yamukwatira Busia gye yali yeekukumye.

BAAMUKEBERA NGA MULAMU Oluvannyuma baamutwala mu ddwaaliro ly'abalalu e Butabika abasawo ne bakakasa nti mulamu bulungi, kwe kumuzza e Kamuli awerennembe no gw'obutemu.

Omulamuzi Sheilla Angura yamusomeramu omusango kyokka n'adda mu kwefuula omulalu n'agezaako n'okwesuula mu kaabuyonjo y'oku kkooti, n'amusindika ku alimanda mu kkomera ly'e Kamuli. Wabula engeri gye yaggyibwa e Kamuli n'atwalibwa e Kirinya teyategeerekeka, wabula omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha, agamba nti baamutwala agasimbagane n'Omulamuzi wa Kkooti Enkulu.

TAATA W'ABAANA AYOGEDDE Muhamad Baleseki atunda sipeeya agamba nti, "Nnali nkola muliraanwa n'ankubira essimu nti alabyeko Nakato mu kitundu, wabula ky'ankuba wala oluvannyuma lw'eddaakiika 20, bwe yantuukako ne yeesogga edduuka n'atandika okwogera nange. Enviiri zanva ku mutwe kuba najjukira abaana bange, olwo ne yeesimba bwa ntoogo n'ahhamba nti, " Nzize kukubuzaako." Ssaamuddamu era nnali kyeteekateeka eky'okumugamba n'asimbula n'alinnya takisi n'agenda.

Abagamba nti namuzza mu maka era tuli bafumbo balimba kubanga oyo omukazi ne bwe mutunuulako ensisi enkwata era mbeera ng'alabye ensolo enkambwe", bwe yategeezezza.

OKUMUTA KY'AVA KU NZE Baleseki ateebereza nti okuta Nakato, kyandiba nga baasinziira ku ye obutalinnya ku kkooti. Wabula akinogaanya nti teri lunaku lwe yafuna ‘samanisi' ya kkooti ng'emuyita. "Okuva lwe nnatwala lipooti ku polisi, ssadayo kubigoberera kubanga binkubya puleesa, kati mpoze ogw'okunzitira abaana ngusinge nfune ki?" bwe yabuuzzizza.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha yategeezezza nti kituufu Nakato yayimbulwa, naye ebisingawo ku bukkwakulizo bwe baamussaako poliisi ekyabinoonyereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...