TOP

Abatujju basse 3

Added 19th March 2019

Abatujju basse 3

ABATUJJU bazzeemu okutta kati kumpi buli lunaku mu mawanga ag'enjawulo waliwo omuntu ey'esuulamu akambayayaaya n'akuba abantu amasasi n'abatta n'okulumya abawerako.

Eggulo mu kibuga Utrecht e Budaaki omusajja yalumbye abaabadde batambulira mu ggaali y'omukka n'asasira amasasi mu bantu. We bwazibidde ng'omuwendo gw'abafudde baweze basatu wadde nga bangi baalumiziddwa.

Olwamaze okukola obulumbaganyi buno omusajja n'adduka olwo poliisi n'etandikirawo okumuyigga. Entambula yasannyaladde okumala ekiseera n'amasomero ne bagalagira okuggalawo basooke bayigge omutujju. Bino we bijjidde, nga ku nkomerero ya wiiki ewedde omusajja Brenton Tarrant 28 e New Zeland yaluse olukwe n'alumba abantu abaabadde mu mizikiti e Christchurch n'abakuba amasasi n'atta abantu 50 abalala ne bagendera ku bisago.

Ono baamukutte ne bamutwalirawo mu kkooti gye baamusomedde emisango gy'okutta abantu ng'akozesa emmundu. Eggulo ku Mmande, poliisi yakedde kukola kikwekweto n'ezinda amaka ga nnyina n'egaaza. Waabaddewo okukungubaga mu mawanga ag'enjawulo ng'e Pakstan gye baakuhhaanye ne bakoleeza emisubbaawa nga bajjukira n'okukungubagira abantu abaafudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.