TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi bamusibye emyaka 40 lwa kutta mukazi we

Omujaasi bamusibye emyaka 40 lwa kutta mukazi we

Added 20th March 2019

Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw’okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.

 Okumu mu kaguli ka kkoooti y'amagye e Makindye nga yasindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 40.

Okumu mu kaguli ka kkoooti y'amagye e Makindye nga yasindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 40.

BYA MARGRET ZALWANGO

KKOOTI y'amagye esindise omujaasi mu kkomera amaleyo emyaka 40 lwa kutta mukazi we.

L/Cpl. Bernard Okumu 44, omujaasi wa UPDF mu nkambi  y'amagye e Luwunga  Kakiri yasindikiddwa e Luzira oluvannyuma lw'okukkiriza nti ddala yatta mukazi we, Annet Kebirungi.

Ssentebe wa kkooti y'amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti yasomedde Okumu ekibonerezo kye n'agamba nti asibiddwa nga basinziira ku kukkiriza kwe. Yamutegeezezza nti omusango gwe yazza munene nnyo ng'omuntu aguzzizza bwe gumusinga naye asalirwa gwa kufa wabula kkooti yamusaasidde kubanga alabika yeenenyezza kye yakola.

Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw'okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.

Okumu yakkiriza nti nga July 6, 2018 e Luwunga mu Kakiri Barraks, Okumu yatta Annet Kebirungi  oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya. Kigambibwa nti yamutemaatema ebiso omulambo n'agusuula mu nsiko eyali eriranyeewo.

Nga wayise ennaku ntono, Okumu yagenda ku poliisi n'agitegeeza nga mukazi bwe yali awambiddwa nga wayise wiiki nnamba nga tamulaba.

Oluvannyuma omulambo gwa Kebirungi gwazuulibwa mu nsiko nga gutandise okuvunda era Okumu bwe yakwatibwa n'akkiriza nti ddala yamutta kubanga yali amusuubiriza okubeera n'omusajja omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...