TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebimu ku bitundu by'abaana abaatemuddwa ebibadde bibuze babizudde

Ebimu ku bitundu by'abaana abaatemuddwa ebibadde bibuze babizudde

Added 20th March 2019

Abatuuze n’abenganda z’abagenzi baategeezezza nti ebitundu bino ebizuuse n’olugoye lw’omugenzi gwe batta nga bamwambudde abatemu be baabikomezzaawo nga poliisi n’abatuuze bamaze okuvaayo.

 Jjajja w'abagenzi Nakitto (ku kkono) n'abakungubazi nga bakaabira abagenzi e Kalagala Gayaza.

Jjajja w'abagenzi Nakitto (ku kkono) n'abakungubazi nga bakaabira abagenzi e Kalagala Gayaza.

Ekibinja ky'abatuuze nga bakulembeddwaamu taata w'omwana omulenzi eyattiddwa, Nicholas Muyingo baazudde ebimu ku bitundu by'omuwala, Peace Nalweyiso 12 eyasaliddwaako ekitundu ky'ekifuba okuli amabeere n'olugoye lwe yalimu.

Abatuuze bano abaabadde batutteyo taata w'omwana (Muyingo) baasoose kwekanga lugoye lwa Nalweyiso lye yalimu mu kifo wennyini awaasangiddwa ekitundu kya wansi ekyasoose okulabika ku Lwokubiri oluvanyuma kwe kulaba ekitundu ky'ekifuba kyokka nga tekikyategeerekeka bulungi olw'ennyama ebadde evunze.

Baayise poliisi y'e Mpigi eyazze ng'ekulembeddwaamu DPC waayo, Joab Wabwire n'ebiggyawo ne bitwalibwa e Mulago okwekebejjebwa oluvannyuma biweebwe abenganda biziikibwe.

 ABATEMU BEBABIKOMEZAAWO EKIRO;

Abatuuze n'abenganda z'abagenzi baategeezezza nti ebitundu bino ebizuuse
n'olugoye lw'omugenzi gwe batta nga bamwambudde abatemu be baabikomezzaawo
nga poliisi n'abatuuze bamaze okuvaayo.

Bagamba nti ekifo kino baakyekebezze bulungi era n'eggumba lye baasanze
ebbali w'ekiwuduwudu baaliggyeyo naye beewuunyizza okulaba nga basangawo
olugoye lw'omugenzi n'ekitundu ky'ekifuba era ne bakakasa nti wandibaawo
eyabikomezzaawo ekiro.

Kino kireeseewo okwekengera nga bagamba nti abatemu bandiba ku kitundu
nga balaba bulungi ebigenda mu maaso era nga n'abaana bano
baabadde babamanyi bulungi.

ABATEMU BAASOOKA KULEMBEKA MUSAAYI;

Okusinziira ku batuuze, abatemu bano baasooka kulembeka musaayi kubanga
ekifo we baasanjagira abaana tewasangiddwa musaayi ng'ate
baabatemaatema nnyo ne babaggyako emitwe, amagulu n'emikono.

ABANTU BATADDE AKAKA MU KUZIIKA;

Nicholas Muyingo yaziikiddwa mu maka ga jjajjaawe abadde amulabirira
John Baptist Kiwanuka e Kalagala Gayaza mu ggombolola y'e Nkozi mu Mpigi.

Okusaba kwakulembeddwaamu omusomesa w'ekisomesa ky'e Nkozi,
Deogratius Ssentongo n'ayatulira abantu nti abatemu abasse abaana bali
nabo ku mukolo gw'okuziika n'abatuuze nabo ne basaakaanya nti
kituufu bali nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....