TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Atutte abakozi be ku poliisi ng'abalumiriza okumubba

Atutte abakozi be ku poliisi ng'abalumiriza okumubba

Added 20th March 2019

Atutte abakozi be ku poliisi ng'abalumiriza okumubba

 Abawala abatwaliddwa ku Poliisi

Abawala abatwaliddwa ku Poliisi

OMUGAGGA nannyini dduuka eritunda ebizimbisibwa erya Namukupa Hardware e Kagujje mu Katwe, atutte abakozi be bana baalumiriza okumubba ku poliisi n'agisaba ebaggalire.

Haji. Asuman Ssentongo mu sitatimenti gyeyakoze ku poliisi y'oku Mutebi Road e Katwe yalumirizza abakozi be ku dduuka okuli Rachael Kaitesi, Phiona Namazzi, Stella Nabakiibi ne Tina Hope okumubba ssente mu dduuka okumala emyaka esatu.

Yategeezezza abaserikale nti, bulijjo ssente n'ebintu ebikalu mu dduuka bibula nga yebuuza ababbi abamubba webava okutuusa lweyakutte abakozi be.

Alumiriza nti, yabakutte lubona ne ssente enkalu obukadde bubiri n'emitwalo 25 kweyasinzidde okuzuula bulijjo abamubba.

Poliisi abawala bonna yabakutte n'ebaggalira ku musango gw'obubbi oguli ku fayiro nnamba SD 12/16/03/2019 wabula oluvannyuma nebayimbulwa ku kakalu ka poliisi ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, akakalu ka poliisi ddembe lya bwebange kyokka tekitegeeza nti omusango guba guwedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....