TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

Added 20th March 2019

Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

 Abakungu ba Kabaka nga balambula essomero lya Ndejje SS

Abakungu ba Kabaka nga balambula essomero lya Ndejje SS

OLUKIIKO olutegesi lw'amazaalibwa ga Kabaka age 64 lulambudde ebifo eby'enjawulo ku Ndejje SS mu ssaza ly'e Bulemeezi awagenda okutegekebwa omukolo guno nga April 13, 2019 era ne bamatira n'engeri essomero gye lyeteseteesemu.

Hajji Amisi Kakomo nga ye mumyuka wa Ssentebe w'olukiiko luno nga yakulembeddemu banne okutuuka mu kifo kino,atenderezza obugazi bw'ekifo nga kyakusobozesa okutegeka omukolo ogw'ekitiibwa.

‘Tulambudde ekisaawe awagenda okubeera omukolo omukulu, ekifo abagenyi ba Beene webanasimba emmotoka zaabwe,ebifo Kabaka wanagabulira Obuganda, ekifo awanabeera amakula ga Kabaka n'ebirala byonna ebikwata ku mukolo tubirambudde," Hajj Kakomo bweyanyonyodde ku Lwokubiri March 19,2019

Hajj Kakomo, mu kiseera ky'ekimu nga ye minisita omubeezi ow'eby'obulimi era avunanyizibwa ku busuubuzi n'obwegassi e Mmengo yakubiriza abantu ba Buganda bonna okweteekateeka okujja mu bungi ku mukolo guno kubanga gy'egimu ku mikulu mu Bwakabaka.

Ye omumyuka w'omukulu w'essomero lino David Balaba Ssenkungu yebazizza Kabaka olw'okuwa Ndejje SS omukisa okutegeka omukolo gw'amazaalibwa ge era neyeyama nti entegeka bakuzikwasa maanyi aleme kwejjusa lwaki yasiimye okuleeta omukolo gwe mu kifo kino.

SSENTEBE W'OLUKIIKO ALAMBULUDDE OMULAMWA GW'OMWAKA GUNO:

Ssentebe w'olukiiko luno,David Mpanga yategezezza nti omulamwa gw'omulundi guno ng'Obuganda bujjaguza amazaalibwa ga Kabaka gugamba nti "

OMWANA AGUNJUDDWA OBULUNGI NGA MULAMU BULUNGI NGA YESIGA KATONDA LY'ESSUUBI LYA BUGANDA.

Omulamwa gw'omulundi guno  twagala okuggyayo embeera y'omwana nga twesigamiza ddala ku mwana oyo gwetunaaba tujjaguza olunaku olwo Ssabasajja Kabaka. Omwana akuziddwa obulungi nga mulamu;- bamukebeza nnalubiri, bamujjanjaba, nga yesiga Katonda ly'essuubi lyetulina okutambuza ensi eno Buganda, Uganda ne Afrika okutwalira awamu.

Tulabira ku Kabaka yennyinyi nti wakati mu bizubu, okukuzibwa kwe obulungi, okugunjulibwa kwe obulungi n'okwesiga Katonda, bimuwangazizza era bitutwala mu maaso ng'obwakabaka.

Tulowooza nti abazadde bonna bwebanalabira ku mugole waffe oyo ow'olunaku bagunjule abaana baabwe nga babasomesa bulungi, babasomesa olulimi oluganda, babasomesa empisa ez'obuntu bulamu Nnabagereka zatuyigiriza buli mwaka. Nga babayigiriza okwerabirira n'okwekuuma obulungi mu by'obulamu omuli okulya obulungi, okwekuuma endwadde zonna ezisigibwa n'ezitasigibwa. Awo wewali essuubi lyaffe.

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly'e Bulemeezi, Kkangaawo Freddie Ntege Ssekammere yategezeza nti ekiseera kino bali mu kunoonya macula ga Kabaka ate n'okukunga abantu kwetegeka okubeerawo ng'abajjulizi wakati mu kulaga essanyu.

Baminisita Joseph Kawuki, Henry Ssekabembe, David Ntege owa pulotoko babaddeko. Kkangaawo yabadde n'olukiiko lwe olw'essaza olutegesi. Abaserikale ba Kabaka nabo nga bakulembeddwamu Maj. Stanley Musaazi betabye mu kulambula kuno nga batuuse ne ku kizimbe kya ofiisi ekisuubirwa Kabaka okusimbako ejjinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo