TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Waggwa Nsibirwa akubirizza ab'e Busiro obutekubagiza

Waggwa Nsibirwa akubirizza ab'e Busiro obutekubagiza

Added 20th March 2019

Waggwa Nsibirwa akubirizza ab'e Busiro obutekubagiza

OMUMYUKA ow'okubiri owa Katikkiro wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa awadde abantu mu ssaza ly'e Busiro amagezi obutekubagiza olw'ebibuga Kampala ne Ntebe okubeera nga bitandise okubalya  wabula basasanye bazuule emikisa egiyinza okuva mu nkulaakulana eno ebasemberedde.

Bino yabyogeredde ku mukolo kweyatikulidde abantu okuva mu masaza okuli Kyadondo ne Busiro oluwalo lwaabwe e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri March 19,2019 naagamba nti Obwakabaka busiima obuwagizi bwebawaayo mu kubukulakulanya.

"Temwekubagiza olw'ettaka kwemubadde mulimira okuba nga bangi balituze olw'enkulakulana ezze mu kitundu wabula ng'abakulembeze musaanye okukwatira awamu n'abantu bamwe mulabe biki ebiyinza okukolebwa mu mbeera empya ng'ekitundu kigenda kufuuka ekibuga. Abadde alima omusiri kati oyinza kulima biki era otya okusigala ng'ofuna ensimbi," Nsibirwa bweyababuliridde.

Kino kyavudde ku mwami w'eggombolola ya Ssabawaali Kasanje, Lauben Kalibbala eyamulopedde ng'abantu mu kitundu kino bwebatunze ettaka okutuuka okulyemalako ng'ate emmere gyebabadde balima nga yeriisa ekibuga Ntebe ne Kampala era nategeza nga bwebali mu bweralikirivu olw'ekibuga ky'e Ntebe okuba nga kigenda kubamira mu nteekateeka ezalangiriddwa gavumenti eyawakati.

Amaggombolola agazze kuliko Mutuba V Kawempe nga bano baleese obukadde 14,Mukulu wa kibuga Lubaga bukadde munana, Kasanje bukadde butaano, Ssabaddu Katabi bukadde butaano, Musaale Ssisa 1,750,000/- ne Nteb- Lunnyo nga zonna wamu zabadde obukadde 36.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu, Joseph Kawuki  yasabye abaami abatwala amaggombolola okufuba okukubisa mu nsimbi zebaleeta omwaka oguwedde mu luwalo nga kino kyakubayamba okutuukiriza obeyamo bwebaawa Katikkiro ng'atongoza enkola y'oluwalo nga February 27,2019 nti bakukunganya obukadde 800 omwaka guno.

Bannabyabufuzi okuli Omubaka Latif Ssebaggala owa Kawempe North, Meeya w'e Kawempe Emmanuel Sserunjoogi, Sulaiman Kidandala, Meeya w'e Katabi Ronald Kalema Basamulakkere n'abalala beyamye okukolera awamu n'abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna mu bitundu byaabwe okuzza Buganda ku ntikko.

Abamu kubaguze satifikeeti enzitto kwabaddeko aba Broadway High School e Kawempe 300,000/-, Grace Nakanwagi 200,000/-,Eugenia Nassolo 100,000/- n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...