TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laddu ekubye abantubabiri e Mukono omu n'afiirawo

Laddu ekubye abantubabiri e Mukono omu n'afiirawo

Added 21st March 2019

Omu afiiridde mu kirombe oluvannyuma lw'okukubwa laddu omulala n'addusibwa mu ddwaaliro ng'ataawa.

 Nicholas Mubiru ng'alaga laddu we yakubidde abaabadde mu kirombe.

Nicholas Mubiru ng'alaga laddu we yakubidde abaabadde mu kirombe.

Bya Joanita Nakatte

Entiisa yabuutikidde abatuuze b'e Bajjo mu munisipaali y'e Mukono ku Lwokubiri oluvannyuma lwa laddu okukuba abantu babiri ababadde bakolera mu kirombe kya bbuloka mu kitundu kino omu n'afiirawo, ate omulala n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ali bubi.

Eyafudde ye Christopher Ssebadduka, omutuuze ku kyalo kawuga mu munisipaali eno abadde akola nga ssentebe w'ekirombe kino, era ng'omu ku baabaddewo Nicholas Mubiru, yannyonnyodde ng'omugenzi bwe yabadde atetenkanya okukweka enkumbi ye mu lukubakuba olwabadde lufuuyirira era ng'eyo laddu gye yamusanze n'emukuba n'akalirawo.

 mugenzi sebadduka bwabadde afaanana Omugenzi Ssebadduka bw'abadde afaanana

 

"Nabadde mu kayumba nga neggamye wabula amaaso nga ngatunuulizza gye baabadde beekukumye, eggulu bwe lyabwatuse nagenze okwetegereza nga be mbadde ndaba sikyabalaba kwe kugamba be nabadde nabo nti waliwo ekikyamu ekituuse ku ba Ssebadduka," Mubiru bwe yategeezezza.

Agamba nti, amangu ago beetegerezza mu kifo we baabadde ng'omusenyu gusituse mu bbanga kyokka nga wanyooka n'omukka era baagenze okubatuukako nga Ssebadduka agang'alamye mu kitaba ky'omusaayi kubanga laddu yabadde emukubidde ddala mu liiso ate omulala gwe yabadde naye ataategeerekese mannya nga yabadde abikka bulooka ze, ye laddu yabadde emusudde mu kidiba ng'ataawa.

Oluvannyuma poliisi yazze n'etwala omulambo mu ddwaaliro e Kawolo okwongera okwekebejjebwa.

Omugenzi yalese abaana abato babiri ne namwandu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...