TOP

Omusawo bamukutte kufera bantu

Added 21st March 2019

Omusawo bamukutte kufera bantu

 Bamugahare gwe bavunaana.

Bamugahare gwe bavunaana.

OMUSAWO eyeekebejja omusaayi bamukutte lwa kufera bantu n'abaggyako ssente ng'abalimbye okubafunira emirimu mu America. Julius Bamugahare, omutuuze w'e Kyebando kisalosalo omusawo mu ddwaaliro lya Victorious e Wandegeya ng'abatuuze baamukazaako lya Dokita yakwatiddwa ofiisi y'omubaka wa pulezidenti e kawempe oluvannyuma lw'abantu abawerako okumuwaako obujulizi nga bwe yabaggyako ssente ng'abasuubizza emirimu mu America n'atabatwala.

Okumukwata yasoose kwefuulira be yaggyako ssente abaabadde bagenze okumubanja n'abayitira abaserikale ng'agamba babbi ab'emmundu era baakwatiddwa ne batekebwako empingu wakati mu lujjudde lw'abantu abaabadde baagala okubakuba, ku bano kwabaddeko; Bony Lukungu eyagambye nti singa abaserikale ba RCD tebaayanguye ku bataasa osanga abantu bandibakubye ne babatta nga babayita babbi kyokka nga baabadde bagenze kubanja.

Abaserikale nga bamaze okuzuula ekituufu baakutte Bamugahare ne babowa n'emmotoka y'ekika kya Primo nnamba UAJ 828R be yafera gye balumirizza nti gye yakozesanga okubatwala e Mukono ku kkanisa ya Double Happiness esangibwa mu maaso ga poliisi gye baasasulira ssente ezimu ng'abagambye omusumba abikolako muntu wa mazima tasobola kubabba.

Abamu ku baamulumirizza kuliko; Glades Nanoze 29 ow'e Mpererwe, Rachael Muyoka 30 ow'e Sseguku, Evelyn Nanvule 26 ow'e Kawempe Ttula n'abalala baategeezezza nti, nga bamaze okutegeera nti, Bamugahare ababbye baamuloopa ku poliisi y'e Kawempe kyokka n'akozesa owa poliisi mayinja asatu gwe yagamba nti muganda we n'ayimbulwa ng'akakasizza okusasula abamubanja n'atakikola. Nanoze yategeezezza nti, mu August w'omwaka oguwedde waliwo eyamuyunga ku Bamugahare okumufunira omulimu mu America nga yamusaba ssente obukadde 400,000/- .

Yagambye olw'okuba baali bamukakasizza omulimu gumulinze n'atunda poloti ye e Mityana n'amuwa ssente. Yayongeddeko nti baali baakugenda nga August 15, bwe zatuuka n'atandika okubabuzaabuzza nti, balindeko kuba okufuna Viza ya America si kyangu nga wano abamu baamukwata ne bamutwala ku poliisi n'akola endagaano n'akkiriza okubasasula nga kati abamu abamubanja abatiisatiisa nga bw'agenda okubatuusako obulabe singa bagenda mu maaso n'ensonga.

Muyoka, Nanvule n'abalala baategeezezza nti buli omu yamusabanga ssente za njawulo okuva ku 200,000/ naye waliwo beyaggyako ezisoba mu bukadde era baamuggulako emisango ku poliisi y'e Kawempe ku fayiro nnamba SD REF: 67/18/12/2018, SD REF: 70/18/12/2018, SD REF:71/18/03/2019 n'emirala

BARUGAHARE AYOGEDDE Bamugahare yasoose kuba mukambwe oluvannyuma yategeezezza nti, kituufu abantu yabaggyako ssente naye waliwo omusumba Geofrey Baliddwa Bambala ow'ekkanisa ya Double Happiness e Mukono gwe yazitwalinga nga y'alina okukwatibwa

OWA POLIISI GWE BALUMIRIZZA AYOGEDDE

ASP Herbert Mukuza akolera ku poliisi y'e Nalumunyyategeezezza Bukedde ku ssimu nti, Bamugahare amulinako oluganda naye tekitegeezza nti alina okutwalira amateeka mu ngalo, yagambye nti Bamugahare ng'amaze okufuna ebizibu yamutegeezzako ne boogera n'abamubanja n'asuubizza okubasasula ng'ensonga zaali ku poliisi y'e Kawempe eyamuwa akakalu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...