TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Added 22nd March 2019

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

 Minisita Seninde

Minisita Seninde

MINISITA w'ebyenjigiriza ebisookerwako era omubaka wa disitulikiti y'e Wakiso omukazi, Rose Seninde akunze Bannawakiso naddala abalina emirimu egivaamu ensimbi, bajje balangire mu katabo akenjawulo Bukedde keetekese okufulumya ku disitulikiti ya Wakiso.

Yagambye nti guno omukisa Bukedde gwereese okuwandiika ku Wakiso n'ebirungi by'erina gusaanye okweyunirwa buli muntu ali mu Wakiso asobole okutumbula bizinensi ye eya buli kika gyakola yeeyongere okugifunamu.

Ssenninde bino yabyogeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu ne Bukedde abaamusisinkanye wali mu makaage e Nangabo Kasangati mu Wakiso.

Yagambye nti mu Wakiso mulimu ebintu bingi abantu byebatamanyi noolwekyo kyandibadde kirungi newekwata akatabo kano ku Wakiso n'omanya buli kigenda mu maaso mu Wakiso naddala ng'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo bakunnyonnyola akawonvu n'akagga byebateeseteese okukolera ekitundu.

Yawadde eky'okulabirako nti mu nkulaakulana, kati tewali kitundu kisinga Wakiso kudduka misinde mu buli kimu era abantu yandibadde abawa amagezi okwettanira emikisa egiri mu Wakiso bakole ssente, ng'ekising obukulu eri abo abakoleramu emirimu bajje mu Bukedde balange bizinensi zaabwe zikulaakulane kubanga zijja kuba nga zimanyiddwa.

Akatabo kano kakufuluma nga March 28, 2019, ku Lwokuna lwa wiiki ejja. Ggwe alina ekirango kyo kuba ku nnamba zino: 0775300584 ne 0772404772

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono