TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettaka ly'e Kiruddu litabudde Mmengo n'Omulangira

Ettaka ly'e Kiruddu litabudde Mmengo n'Omulangira

Added 22nd March 2019

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

ETTAKA Gavumenti ly'ebadde eyagala okugula ezimbeko ekkuhhaanyizo lya kazambi ava mu ddwaaliro ly'e Kiruddu litabudde Mmengo n'Omulangira David Namugala Mawanda nga buli ludda lugamba nti lyalwo.

Gavumenti kati eri mu kattu olw'enkaayana zino nga temanyi muntu mutuufu gw'egenda kusasula oluvannyuma lwa buli ludda okuwaayo ebiwandiiko ebiraga obwannannyini.

Ku Ssande ewedde omumyuka w'omubaka wa pulezidenti e Makindye Ibrahim Kagorora yatuuzizza olukiiko mu kitundu kino n'ategeeza abatuuze nga Gavumenti bw'ekyasobeddwa olw'enkaayana z'ettaka lino.

Mu lukiiko olwatudde mu Valley Zooni ewali ettaka lino okuliraana eddwaaliro lya Kiruddu nga lwakubiriziddwa ssentebe Ssaalongo Henry Ssempereza, Kagorora yagambye nti ssente z'okusima ekinnya baaziyisa ng'ekikyasibye omulimu z'enkaayana eziri ku ttaka lino.

Kagorora yagambye nti embeera eriwo erowoozesa abantu nti Gavumenti tebakolera bye baagala so nga waliwo ensonga ezikyabasibye ezirina okusooka okugonjoolwa. Omulangira Namugala mu lukiiko luno yakiikiriddwa abaami babiri okwabadde omupunta w'ettaka lya Estate ya Daudi Chwa, Emmanuel Gabula eyategeezezza abatuuze nti ensonga z'ettaka lino zirimu obutali bwerufu, Katikkiro bw'asiiba ayogerako.

Gabula yalaze RCC Kagorora n'abatuuze ebiwandiiko bye yagambye nti aba famire ya Chwa ng'omuntu kwe basinziira okuba n'obwannannyini obutuufu ku ttaka lino. Okusinziira ku Gabula, ettaka lino liri ku bbulooka 256, 267 ne 255 nga lyali lya Ssekabaka Daudi Chwa II ng'omuntu ate bwe yafa mutabaniwe Omulangira Mawanda eyamusikira n'afuuka nnannyini lyo.

Bwe yafa Omulangira Namugala eyamusikira n'abeera n'obwannannyini. Haruna Ntambaazi, oweebyokwerinda mu kitundu yasomedde abatuuze ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino bye yagambye nti baabifuna okuva mu nsonda ezeesigibwa nga biraga nti ab'enju ya Ssekabaka Daudi Chwa be balina obwannannyini obutuufu.

Ntambaazi aliko ekyapa kye yalaze abatuuze n'abategeeza nti aba BLB kye baawaayo eri Gavumenti ne KCCA nga baagala basasulwe ssente z'ettaka lino. Yagambye nti ekyapa kino bakirinako ebibuuzo ebiwerako kubanga kyogera ku ttaka lya bwannannyini (mayiro) nga kiri mu mannya ga "The Kabaka of Buganda" kye yagambye nti tekisoboka ku ttaka nga lino.

Mu birala bye beemulugunyizzaako ku kyapa kino, kwe kuba nti kiraga nti kyafulumizibwa nga June 27,1923 mu mannya ga ‘Uganda Land Commission' gye yagambye nti teyaliiwo mu kiseera ekyo kubanga yatandika mu 1966. Mu bimu ku biwandiiko ebyalabiddwaako abaakiikiridde omulangira Namugala bye babadde nabyo, kwabaddeko n'ekyapa ekiri mu langi eya kyenvu nga kiri mu mannya g'omulangira George William Mawanda nga kyafuluma mu 1944. Ssentebe Ssempereza yategeezezza nga bwe yasazeewo okuyita olukiiko luno oluvannyuma lw'okukitegeerako nti waliwo omutuuze we Steven Lwanga naye agamba nti alina obwannannyini ku ttaka lino.

Ssempereza yalaze abatuuze ekiwandiiko kya Buganda Land Board ekiriko omukono gwa Kiwalabye Male abadde akikulira nga yakiwandiika nga February 18,2019, nga kiraga nti ettaka eryogerwa eriri ku bbulooka 255 lya Kabaka so si Mulangira Namugala. Mu bbaluwa eno, Kiwalabye agamba nti Omulangira Namugala okuvaayo n'akaayanira ettaka lino ly'atalinaako bwannannyini kikyamu.

Omwogezi wa BLB Denis Bugaya yategeezezza ku ssimu nti ensonga eyogerwako ya ttaka lya bwannannyini erya Kabaka noolwekyo bwe wabaawo alikaayanira ateekwa okuba n'ekyapa.

Mu kumaliriza olukiiko olwabadde olwakasammeeme, Kagorora yagambye nti agenda kulonda akakiiko kalondoole ensonga eno n'oluvannyuma kamuwe lipoota gy'agenda okutwalira mukamawe Pulezidenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...