TOP

Budaaki eyongedde ssente mu Harvest Money

Added 23rd March 2019

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda atadde omukono ku kiwandiiko eky’enkolagana ne kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde okwongera okussa ssente mu mwoleso gwa Harvest Money emyaka emirala esatu mu maaso.

 Kabushenga (wakati), omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Jan Baker ne Josephat Byaruhanga (ku kkono) akwataganya eby’okulima n’okulunda ku kitebe kya Budaaki mu Uganda oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano.

Kabushenga (wakati), omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Jan Baker ne Josephat Byaruhanga (ku kkono) akwataganya eby’okulima n’okulunda ku kitebe kya Budaaki mu Uganda oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano.

Okusinziira ku Robert Kabushenga akulira Vision Group, endagaano eno eteereddwaako omukono okukakasa nti ekitebe kya Budaaki kissa ssente mu Mwoleso guno omwaka ogujja, mu 2021 ne 2022.

"Njagala okutegeeza Bannayuganda bonna nti kikakasiddwa nti omwoleso gwaffe gwakubeerawo emyaka esatu egiddako.

Omwoleso guno guyamba abalimi, abalunzi n'abalala abaliko bye bakola mu bulimi, obulunzi n'obuvubi okwongera okuyiga ebintu eby'enjawulo n'okutumbula emirimu gyabwe," Kabushenga bwe yagambye.

Yeebazizza abantu abalala ne kkampuni abassa ssente mu mwoleso guno n'agamba nti guyambye nnyo okutumbula obulimi n'obulunzi mu Uganda.

"Waliwo abatusaba tutandike okutambuza omwoleso mu bitundu eby'enjawulo oba waakiri okugutegeka emirundi ebiri mu mwaka wabula kino kitegeeza ssente.

Kye tukakasa abantu nti buli mwaka omwoleso guno tujja kugwongerangamu ebinnonoggo n'ebyokuyiga," Kabushenga bwe yagumizza.

Omubaka wa Budaaki mu Uganda, Henk Jan Baker yagambye nti kino bakikoze okulaba nga batumbula obulimi n'obulunzi mu Uganda okusobola okukyusa embeera za Bannayuganda.

"Nga Budaaki tuli basanyufu okulaba nga tusobola okuyamba okukyusa embeera z'abantu mu Uganda. Tukimanyi nti okulima n'okulunda Bannayuganda kwe bayimiridde mu byenfuna ng'okubitumbula kitegeeza kutumbula byanfuna byabwe," Baker bwe yagasseeko.

Kabushenga yategeezezza nti omwoleso gw'omwaka ogujja (2020) gwakubeerawo nga February 14 - 16, 2020 era ng'enteekateeka egenda kwongera okubeera ey'omulembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...