TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abapoliisi 43 bakubye Gav't mu mbuga z'amateeka lwa misaala

Abapoliisi 43 bakubye Gav't mu mbuga z'amateeka lwa misaala

Added 24th March 2019

ABAPOLIISI 43 abali ku ddaala lya kadeeti bawabidde gavumenti nga bagamba nti bagibanja omusaala oguweza obukadde 216 gw’ekyalemeddwa okubasasula. Bawabye mu kkooti enkulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku misango egitali gya naggommola (civil division ).

ABAPOLIISI 43 abali ku ddaala lya kadeeti bawabidde gavumenti nga bagamba nti bagibanja omusaala oguweza obukadde 216 gw'ekyalemeddwa okubasasula. Bawabye mu kkooti enkulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku misango egitali gya naggommola (civil division ).

Abapoliisi abali ku ddaala lya kadeti  nga baakulembeddwa  Simon Peter Aimai,  bagamba nti omusaala ogwalina okubaweebwa gwakyusibwa ne kukendezebwa nga bakamala okuweebwa emirimu.

Baagala kkooti esalewo nti okukyusa kw'eddaala kwe balina okusasulwa erya U4 okuzzibwa ku U4 lower kwali kumenya ndagaano.Baagala ensimbi eziwera obukadde 216 zibasasulwe okuva mu November 2018 okutuusa January 2019.

Kigambibwa nti mu 2015 ,aba poliisi ab'eddaala lya kadeeti baweebwa emirimu  nga kyaddirira ekirango ekyalabikira mu New Vision.Bagamba nti baasunsulwa ne batwalibwa mu kutendekebwa e Kabalye police training School e Masindi. Era ne bawebwa emirimu nga bakadeeti  ASPs Science professionals.

Bagamba nti mu bajeti ya 2018 emisaala gy'abakozi ba gavumenti abaasoma sayansi gyayongezebwa  okuli n'egyabwe kyokka ensimbi zaabwe tezibawebwa.

            Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambuye tanalaba ku kwemulugunya kwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....