TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte 2 ku by'owapoliisi eyafiiridde mu mikono gy'amagye

Bakutte 2 ku by'owapoliisi eyafiiridde mu mikono gy'amagye

Added 25th March 2019

Bakutte 2 ku by’owapoliisi eyafiiridde mu mikono gy’amagye

POLIISI ekutte boofiisa baayo babiri okuli Sauda Nassolo OC wa poliisi ye Kabulengwa ne Yakub Wakisadah OC wa poliisi y'oku Kaleerwe, ku by'okuttibwa kw'omuserikale eyafiiridde mu mikono gy'abaamagye nga kigambibwa nti abadde apangisa ababbi emmundu.

Ekyakwasizza Wakisadah, kulagajjalira mulimu omukazi bwe yajja n'amuloopera nga bba bw'amulaba n'emmundu egambibwa nti yagipangisanga ku muserikale Mbirire eyafiiridde mu mikono gy'amagye, kyokka ofiisa ono n'atafaayo kugoberera nsonga eno na kutegeeza bakama be.

Okusinziira ku sitetimenti ya Jenifer Nagudi mukyala wa Isma Ssemwogerere omubbi eyalumirizza Gideon Mbirire omuserikale wa poliisi okumupangisa emmundu, Nagudi yategeezezza nti ng'amaze okukitegeera nti bba alina emmundu yagenze ku poliisi y'oku Kaleerwe n'ategeeza Yakub Wakisadah n'amutambuza olunaku lulamba ng'omusango taguyingizizza na mu fayiro.

Yayongeddeko nti yalaba tebamufuddeeko n'abaako abaserikale b'ayogerako nabo abaamuyamba ne boogera ne OC okusobola okukkiriza okuyingiza omusango gwe kuba yalina obujulizi nti bba alina emmundu.

Oluvannyuma Wakisadah yakkiriza okuyingiza omusango kyokka n'ayingiza mulala ogutali gwa mmundu ku nnamba SD REF 22/19/03/2019. Yagambye nti Wakisadah yamuggyako essimu n'amusaba lisiiti yaayo ng'agamba nti bba engeri gyali mubbi eyinza okuba enzibe.

Yagasseeko nti yakulemberamu Wakisadah n'amutwala mu nju n'amulaga bba we yali atereka emmundu gye bataasangawo kuba yali agiggyeewo. Wano Wakisadah we yasinziira ensonga obutaziteekamu maanyi kuba n'ennyondo eyasangibwawo ng'eriko omusaayi teyagitwala.

Ye OC w'e Kabulengwa Sauda Nassolo eyali atwala omugenzi Mbirire, ekyamukwasizza, y'emmundu y'omugenzi okugisangamu amasasi 4 gokka kw'ago 30 agaali gateekeddwa okubeeramu kyokka nga tewali kiraga nti yalinga alondoola emirimu gy'omuserikale we ono.

Boofiisa bano bombi n'okutuusa olunaku lw'eggulo baabadde bakyasibiddwa ku poliisi e Kawempe ng'okubuuliriza mu nsonga zaabwe bwe kugenda mu maaso.

NNAMWANDU W'OMUGENZI AYOGEDDE Betty Chelimo nga yaabadde muk'omugenzi Mbirire, yagambye nti yasembayo okwogera ne bba ku Mmande n'amutegeeza nga bwali omugonvu nti kyokka alina obuzibu ne mukama we ku mulimu olw'obutategeeragana obuli wakati waabwe. Chelimo naye muserikale wa poliisi, akolera mu bitundu by'e Bulambuli nga babadde n'omwana omu, era nga bba we yafiiridde, yamulese n'olubuto.

Chelimo agamba nti bwe yawulidde nti bba afunye obuzibu yalinnyiddewo mmotoka n'ajja mu kibuga okugoberera bba nti kyokka yagaaniddwa okumulabako okutuusa lwe baamubikidde nti afudde. Yasabye bakama be mu poliisi okukola kyonna kye basobola okulondoola enfa ya bba gye yagambye nti tematiza nti era ayagala obwenkanya ku nsonga eno amazima gamanyike.

Okusinziira ku bbaluwa y'abasawo ku ggwanika e Mulago gye baakoze oluvannyuma lw'okwekebejja omulambo gwa Gideon Mbirire, yalaze nti omugenzi yakubibwa nnyo ekyavaako omusaayi okwesiba. Oluvannyuma aba famire baaweereddwa omulambo gwa Mbirire ne bagutwala e Rakai gye yaziikiddwa eggulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....