
Sseya Ssebaggala
EYALIKO Meeya wa Kampala Haji Nasser Ntege Sebaggala ‘Seya' asinzidde mu ddwaaliro e Kibuli n'agumya abantu be nti ajja kuba bulungi. Abasawo baamukebedde ne bazuula nti alina emmere gye yalidde n'emuyisa bubi mu lubuto, wabula si butwa nga bwe byasoose okusaasaana.
Seya yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kibuli ku Lwokutaano akawungeezi n'aweebwa ekitanda mu waadi ya Kakungulu akasenge nnamba 3. Ennaku zino Sebaggala ebyobufuzi abadde yabiwummulamu