TOP

Enkalu zeyongedde mu mpaka z'obubina

Added 25th March 2019

Enkalu zeyongedde mu mpaka z'obubina

 Baanabawala nga balaga endoddo z’obubina.

Baanabawala nga balaga endoddo z’obubina.

ENKALU zaabadde mu kusunsula abaneetaba mu mpaka z'aboobubina omu ku bawala abaasuuliddwa bwe yeesimbye mu maaso g'omutegesi n'amubuuza amulage we yakyama oba si kyo amuzze ku lukalala.

Abategesi baasomye abaayiseemu okuvuganya mu z'akamalirizo kyokka ono bw'ataawulidde linnya lye, eby'okuyimirira ng'abavuganya bwe bakola nga bataddeko akamwenyumwenyu yabitadde ku bbali n'assaako feesi ebanja n'alumba omutegesi. Olwamutuuseeko n'akwata mu mbinabina n'amubuuza nti; ‘Mwayita ba bubina, kati kino kiki, lwaki temunnonze?'

Omutegesi yamuwooyezzawooyezza ye nga tayagala kumanya okutuusa abasazi b'empaka lwe bannyonnyodde ebikulu bye bagoberera omuli n'okuddamu ebibuuzo nga totamattama mu Lungereza n'ebirala kubanga anaawangula empaka takoma ku kufuna mmotoka wabula agenda Lagos ekya Nigeria mu August w'omwaka guno awali okuvuganya mu mpaka za Miss Curvy Afrika ez'akaasammeeme.

Mu kusooka, abaavuganyizza baabadde 38 wabula okusunsula bwe kwatandise, abawala 18 baabuzeewo nga tebasiibudde bwe baazudde nti abategesi tebafa ku bya bubina bwokka wabula n'ebigenda mu maaso mu nsi ate ekyabamaze enviiri ku mitwe nga babuuza mu Lungereza!

Abawala abaasigaddewo 20 nga bangi baabadde bayizi mu yunivasite ez'enjawulo, baatandise okuvuganya mu kusunsula okw'omulundi ogwokubiri okufunamu abaneetaba mu z'akamalirizo ezigenda okubeera ku Imperial Royal hotel nga April 26, 2019.

Baabadde ku bbaala ya Ambience e Bukesa ku Lwomukaaga, Annie Mungoma eyatandikawo eby'empaka za Miss Curvy Uganda gye yasabidde abawala okumanya omulamwa gw'empaka nti za kuzzaamu abakyala abanene ab'obubina amaanyi nti nabo bantu ng'abalala era kye bali bakiwuliriremu emirembe

P

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...