TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwetissi w'amanda aleppuka na gwa kukwata mukazi

Omwetissi w'amanda aleppuka na gwa kukwata mukazi

Added 25th March 2019

OMWETISSI w’amanda agambibwa okukaka omukozi w’ebbaala omukwano akwatiddwa, omuwala bamututte mu ddwaaliro ng’embeera mbi.

 Sserunjogi eyakwatiddwa.

Sserunjogi eyakwatiddwa.

Dennis Sserunjogi 24, omwetissi w'amanda yakwatiddwa abakulembeze ba LC ya Ddobbi zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ne bamukwasa poliisi y'oku Kaleerwe oluvannyuma lw'omuwala (amannya gasirikiddwa) okumulumiriza nga bwe yamuvumbiikirizza mu bbaala mw'akolera n'amukaka omukwano.

Yagambye nti Sserunjogi yasoose kugula mwenge n'agulira n'abaabaddemu kyokka bakasitoma abalala baafulumye ye n'alemeramu okukkakkana ng'amukutte namusobyako.

Ensonga yazitutte ku LC eyamwongeddeyo ku poliisi nga bino by'abaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga kati omuwala takyasobola okutuula.

Ku Lwomukaaga Sserunjogi yakwatiddwa n'akakasa nti kituufu omuwala yamusobyako naye tamanyi lwaki yakikoze n'asaba ekisonyiwo.

"Omuwala seegaana namukozesezza, naye nsaba kisonyiwo sigenda kuddamu kuba saategedde lwaki nakikoze." Sserunjogi bwe yategeezezza.

Meddie Ssekate akulira ebyokwerinda mu Ddobbi zooni yategeezezza nti Sserunjogi azze asobya ku bawala ku mpaka nga ne gye buvuddeko baamusanga lubona ng'alina gwafundirizza ku kisenge bwe yabalaba nadduka.

Omusango guli ku poliisi y'e Wandegeya ku fayiro nnamba SD REF: 37/23/3/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo