TOP

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira kiralu

Added 25th March 2019

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira kiralu

Lima ennyaanya mu kyeya lw'ojja okufunamu. Mu budde nga buno omuntu awaayo obudde bwe n'alima ennyaanya ye yekka asobola okufuna eky'enkizo mu bulimi n'alema kubwevuma....

Julius Mwesigwa omulimi w'ennyaanya ku kyalo kyamanyoli mu bukomero Town council agamba nti, mu budde obw'omusana mw'asimbira ennyaanya ze nga teri mulimi mulala yenna asimbye olw'okuba nti buli omu atya okuteekamu ate n'emirimu emingi egyetaagisa okukola okusobola okukuza ennyaanya y'omusana.

Newankubadde ng'abalimi abasinga tutya omusana naye nakizuula nti wano we wali omukisa okulima n'ofunamu. Mu budde buno nnina ennyaanya ezitandika okwengera nazisimba buli muntu agamba nti hhenda kufiirwa olw'okuba enkuba yali eweddeyo naye nga nkimanyi nti ndi mu kibalo era kati bookisi egula wakati wa 370,000/- ne 450,000/-. Bwe nnoga bokisi ssatu mba nnina 1,000,000/- ate nga bansaze ku nnimiro ekintu ky'otasobola kufuna mu biseera by'enkuba.

Ng'oggyeko ezitandika okwengera era nnina n'ennimiro endala bbiri ze nsimbye mu kasana. Kye nakola nayiwa bbeedi ne nzizimbako ekiyumba ekitakkiriza musana kutuuka ku ndokwa zange olwo ne nfukirira emisana n'olweggulo okutuusa bwe zaakula ne nzisimba. Okukuza enNyaANya mu musana Okusobola okukuza ennyaanya zino endokwa nzisimba lwaggulo ng'enjuba egudde.

Mu kusimba tusimba bwe tufukirira ate mba nasaze dda endagala nga buli ketusimba tukabikako akalagala ketuba tumenye. Kino tukikola okuziyiza omusana oguyinza okutta endokwa. ekyo bwe kiggwa ate tukwata essanja ne tubikka bulungi ekitundu ekiwedde okusimba okusobola okukuuma amazzi mu ttaka ennyaanya yaffe esobole okukula. Ng'ennimiro yonna ewedde okusimba era nga n'okubikka kuwedde buli ku makya nze n'abantu bange tukeera okufukirira ennimiro ate n'olweggulo bwe tutyo.

Ebirungi by'okulima ku musana Newankubadde nga ku bantu abasinga kirabika ng'okulima ku musana kijjudde obuzibu naye nze kye nsinga okwenyumirizaamu.

Ebirime ng'ennyaanya bw'ozirima ku musana we zituukira oba weeramula ng'abasuubuzi bakunoonya bunoonya era bakusanga ku musiri olwo ne weeramula. Ennyaanya ku musana teyetaaga ddagala era okufuuyira kuba kutono ate n'ekigimusa sikyamaanyi nga by'okozesa ku nkuba kubanga ku nkuba buli lw'etonnya olina okufuuyira eddagala ly'ebiwuka ate n'endwadde endala ziba nnyingi.

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira kiralu Mwesigwa ng'ali mu musiri gw'ennyaanya z'alima mu musana. Engeri gye weeteekateekamu okulima ennyaanya ku musana Zimba ekiyumba w'onoosimba nnasale.

Olina okubeera n'ekifo w'oyinzaokutereka amazzi agawera okumpi n'ennimiro, wano osobola okusima ekinnya oba n'okozesa amapipa agawerako. Ofuna abakozi abawera abanaakuyamba mu kufukirira. Olina okutegeka by'onoobikkisa ng'essanja lye lisinga okukola obulungi naye bw'oba tolirina ofuna essubi nalyo likola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo