TOP

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Added 25th March 2019

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

POLIISI ye Matugga erwanaganye n'abatuuze ku kyalo kye Kiti nga etaasa abasajja babiri abagambibwa nti babadde bamenya amayumba g'abatuuze.

Abakwatiddwa kuliko Wasswa Swalik 30 ne Kenedy Sekajja 34 abatuuze mu kitundu kino nga bano poliisi okutuuka okulwanagana n'abatuuze kyaddilidde okutemezebwako era bwebagenze okubataasa abatuuze nebagala okubabagyako wano poliisi kwekubasinza amaanyi era ekyaddilidde kwekubatwala ku poliisi wakati mu bukuumi obwamanyi.

Abakwate buli omu abadde alumirizza munne nga bwamenya amayumba g'abantu era nga buli agamba nti yalina ebyuma ebimenya amayumba g'abantu.

Ye akulira ebyokwerinda ku kyalo kino Mohammad Nsubuga yagambye nti abasajja bano balina ekibinja kinene nyo nga bano okubakwata abatuuze babekengedde bwebatyo kwekutegeeza abobuyinza era navumirila ekyabatuuze okwagala okutwalira amateeka mu ngalo.

Abakwate bano bakuumibwa ku poliisi ye Matugga nga okunonyerezzabwekugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...