TOP

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Added 25th March 2019

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

 Minis ita Sarah Opend nga yenyigidde mu kuyonja amannyo e Kayunga

Minis ita Sarah Opend nga yenyigidde mu kuyonja amannyo e Kayunga

ABASAWO  b'amannyo bakuzizza olunaku lw'okuyonja akamwa mu Kayunga ne basaba  gavumenti  okugaziya amalwaliro agajjanjaba akamwa n'amannyo  okutuuka ku bujjanjabi obuli ku  health centre IIIs.

Bino byayogeddwa mu kujjaguza olunaku  lw'okuyonja akamwa mu nsi yonna ( World Oral Health day ) olwategekeddwa e Kayunga girls' school , Dr Twaha  pulezidenti  w'ekibiina ekijjanjaba amannyo ( president Dental Association} yategeezeza nti abasawo bamannyo abali ku ddala lya Diploma bajjanjababira  health centre IVs, ate abalongoosa amannyo batuuka ku disitulikiti n'amalwaliro amanene agali mu ggwanga.

"Omusawo omu ow'amannyo ajjanjaba abalwadde abali wakati 25,000 ne 60,000  ku malwaliro agali ku health centre IV  nagamba nti omuwendo guno munene nnyo ku musawo omu okujjanjaba abantu abo bonna "Dr. Ayub bwe yategeezezza.

Minisita  ow'egwanga owaguno naguli Sarah Opendi ategeezezza nti mu kiseera kino eggwanga mulimu  abakugu b'amannyo   300 dental surgeons  era 75 ku 100 bakolera mu Kampala  ebyalo ne bisigazaawo 25 ku 100.

Omukugu mu mannyo (dental surgeon) ye musawo eyakuguka mu ndwadde z'amannyo , okuzekebejja , okuziziyiza saako n'okujjanjaba endwadde z'akamwa zonna.

Opendi yategeezezza nti abasawo abateekeddwa okukolera ku  disitulikiti ne malwaliro amanene tebakola olw'okubulwa ebyuma ebikozesebwa mu malwaliro gano.

"Amannyo gabeeyi okugajjanjaba  y'ensonga lwaki gavumenti eremererwa okutuukiriza byonna abakugu  bye bitaaga  mu malwaliro  ekibaviirako okwenonyeza amalwaliro g'obwananyini gye bakolera ate ng'abantu abasinga obungi beeyi y'amalwaliro g'obwanannyini tebagisobola " Opendi bwe yategeezezza .

Okusinziira ku minisitule ye byobulamu  50 ku 100 amalwaliro ga gavumenti tegalina basawo bamala nga batendekeddwa mu mannyo .

Yakubirizza abantu okusennya amannyo ku makya  n'ekiro nga bagenda okwebaka.Okusinziira ku kitongole ky'ensi yonna ekye byobulamu  (WHO) endabirira y'amannyo ye kyasinze okubeera enzibu mu nsi yonna era y'evaako amannyo okulwala.

Okunoonyereza okwakolebwa Mu 2015  abavunda amannyo mu nsi yonna  bali 2.3 billion  ate baana  bali 560 abavunda amannyo.

Mu nsi zimufuna mpola , abasing obungi tebajjanjaba mannyo era abasing bagenda mu malwaliro nga bali bubi nga takyasobola kulya n'okwebaka era olumu obulumi buno buyinza okuleeta endwadde endala.

Dr. Ahmed Matovu Akulira ebyobulamu ku disitulikiti (DHO) ategeezezza nti ebbula lye bikozesebwa mu malwaliro ge Kangulumira ne Bbaale kikosezza abantu bangi abetaaga obujjanjabi  ate mu Kayunga endwadde eziva mu butalongoosa kamwa zivaako okulwaza  ebibuno, okuvunza amannyo okugegera.

    Ku lunaku luno abayizi 1,000 okuva mu massomero agenjawulo mu Kayunga bakuuliddwa amannyo era ne bayigirizibwa  okugayonja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...