TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

Added 26th March 2019

Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

 Abenakyo ng'ayogera

Abenakyo ng'ayogera

NNALULUNGI wa  Uganda  Quiin Abenakyo atongozza  kawefube w'okubunyisa amasanyalaze  g'amaanyi g'enjuba mu  byalo n'amaka 10,000.

Abenakyo  ng'ayita mu kibiina kya Miss  Uganda  Foundation  ne MAAD  McCann bali mu kawefube w'okulaba ng'abantu abali mu byalo   naddala abatalina  busobozi  bwa kweyunga ku masanyalaze ga  Umeme nga nabo  bafuna ku kitangaala  ate ku ssente entono.

Abenakyo mu kutongoza  kawefube  ono ku Hotel Africana ku  Lwokubiri yagambye nti ekitangaala   kiyinza  okureetawo enjawulo naddala eri omwana  ow'obuwala  kuba  bebasinga okukosebwa  mu kizikiza.

 Nga bayita mu makampuni ag'enjuwula  n'abantu ba ssekinnomu  n'ebibiina bya bakyewa  baagala  okulaba nga  bayambako  okutuukiriza kawefube ono ku 550,000/-buli Solar ey'ettaala ennya

 Yagambye nti ekitangala  kitangira obumenyi bw'amateeka  n'ebikolwa  eby'effujjo  ebitera  okukolebwa mu kizikiza  ssaako  n'okutaasa  obubenje  n'endwadde eziva  ku ttaala za tadooba.

Ye George Mutabaazi ssentebe wa disitulikiti ye Rwengo yagambye nti enkola ya  Solar yasooka kubunyisibwa mu kitundu kye mu mwaka 2014 wabula nga  yatumbudde eby'enjigiriza  kuba ettaala ennya  ezigabibwako kyatteeka  emu essibwa mu ddiiro , emu wabweeru w'ennyumba mu maaso n'emmanju endala mu kisenge ky'abaana  basobole okuzuukuka okusoma ekiro.

Kino kyongedde ku bungi bw'abaana abayitira mu ddaala erisooka mu Rwengo ssaako n'obungi bw'bo abagwa\

Ye  Captain Mike Mukola  yalaze obwetaavu bw'okwongera okubuinyisa amasanyalaze g'amaanyi g'enjuba mu ggwanga  okusobola  okweyambisa omukisa gw'embeera  y'obutonde mu ggwanga  ng'akasana  kaaka bu buli lunak

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu be bakyaye abasinga beeteekako omusango ne badda mu kweraliikirira bwe banaaba.

Amenyese mu nsonga z'omukwa...

ABAVUBUKA bangi bafuna abaagalwa nga balina ebintu eby’enjawulo bye basuubira okufuna. Oluusi beesanga ng’ebintu...

Ronnah Naturinda ng’asomesa abaami.

Abaami temusirika nga bakya...

  Nnaalongo Ruth Muguta akola mu minisitule y'ekikula ky'abantu bwe yabadde ayogerako mu lukiiko lw'abaami abeegatira...

Omwana nga yeesuuba.

Abaana mubasseeko kafi yu o...

ABAANA mubakolere kafi yu ey'emisana baleme kutangatanga ku kyalo, engeri abasinga gye mwazzeeyo ku mirimu. Ennaku...

Lukwago ne Seya Sebaggala

Seya akomyewo ku kya mmeeya...

HAJI Nasser Ntege Sebaggala alangiridde nga bw’agenda okuvuganya ku bwa Loodi Meeya wa Kampala n’agamba nti azze...

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...