TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP esibidde ku Bobi Wine mu 2021,n'eyita Besigye abeegatteko

DP esibidde ku Bobi Wine mu 2021,n'eyita Besigye abeegatteko

Added 26th March 2019

DP esibidde ku Bobi Wine mu 2021,n'eyita Besigye abeegatteko

 Keneth Paul Kakande omwogezi ng'annyonnyola

Keneth Paul Kakande omwogezi ng'annyonnyola

DP egambye nti erina enkolagana ey'amaanyi n'ekiwendo kya ‘People Power' era omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine ali ku mwanjo gw'abantu beesuubira okuwandako eddusu  avuganye Pulezidenti Museveni mu 2021.

DP egamba nti pulezidenti wayo Nobert Mao ne Genulo Girigooli Mugisha Muntu owa New Formation nabo ebalowoozaako wabula ku basatu egenda kulondako omu asinza obuwagizi mu bantu gw'eba ewagira mu 2021.  ‘'Ekyabadde mu Arua kyeraze lwatu ani abantu gwe basing okwagala'' akulira entegeka za DP ez'okwezza obugya Lubega Mukaaku bwe yagambye.

Abakulembeze ba DP okwabadde avunaanyizibwa ku by'amawulire Keneth Paul Kakande,  Lubega Mukaaku n'eyali omubaka wa Makindye East mu palamenti Mike Mabikke be baategezezza bino.

DP yagambye nti yatandika ekiwendo ky'okugatta ab'oludda oluvuganya okukolera awamu mu kulonda kwa Pulezidenti,ababaka ba palamenti n'abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu mu 2021 era buli ayagala wa ddembe okugyegattako.

‘'Col. Kiiza Besigye naye tumuyita atwegatteko. Kyokka eky'okusalawo eky'enkomerero ku kutwegatako kiri gyali'' Mike Mabikke owa SDP kyokka ng'ali mu ntegeka za DP okukolera awamu n'ab'oludda oluvuganya abaagala bwe yagambye.

Kakande yagambye Gen. Mugisha Muntu,Mao ne Bobi Wine boogegerezeganya okulaba oba beerondako omu avuganye ku bwa Pulezidenti. Mu ngeri y'emu DP etegeezezza nti ab'oludda oluvuganya abalina endowooza y'okukolaganira awamu basimbewo omuntu omu mu kulonda ababaka n'abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu  mu bitundu ebitali bimu bagenda kusisinkana basse omukono ku kiwandiiko ky'enkolagana nga April 4,2019.

Mukaaku yagambye nti aba DP ekiririza mu kwegatta kw'aboludda oluvuganya tebana kweyawulamu. Yagambye nti Bobi Wine yazaalibwa mu famile ya DP nga nnyina ne kitaawe ba kibiina kino era tebayinza kumuvaamu. 

‘'Kyagulanyi ayagala nnyo DP. DP ebadde ekolagana ne Bobi Wine era y'esinza okumuwa akazindaako ku mikolo gyayo.Ebibiina ebirala nga FDC ne UPC tebinavaayo. Tukiririza mu bukulembeze bwa Kyagulanyi okukwata omumuli gwenkyukakyuka (z'okusigukulula Pulezidenti Museveni)'' bwe yagambye.

Yagambye nti mu nkola eno DP ejja kufuna ebitundu gy'esinza obuwagizi ng'eno abantu baayo tebajja kuvuganyizibwa ba ludda lulala, ate mu bitundu ebibiina ebirala gye bisinza obuwagizi DP tejja kwetantala kutwalayo bantu ejja kuwagira abo ab'ebibiina ebisinzaayo amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...