TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti eragidde wassibwewo akakiiko ku kuttibwa kwa Ssebulime

Palamenti eragidde wassibwewo akakiiko ku kuttibwa kwa Ssebulime

Added 27th March 2019

Palamenti eragidde wassibwewo akakiiko ku kuttibwa kwa Ssebulime

PALAMENTI eyingidde mu by'okuttibwa kwa Ronald Ssebulime 39, eyattiddwa nga bagamba nti yabadde alondoola Minisita Idah Erios Nantaba okumutuusaako obulabe.

Ababaka abaakakiiko ak'eddembe ly'obuntu baafulumizza ekiwandiiko eggulo nga bavumiririra eky'okuttibwa kwa Ssebulime mu ngeri etyoboola eddembe lye (Sebulime) n'okumenya amateeka kubanga omugenzi teyaweereddwa mukisa kwewozaako.

Mu kiwandiiko ky'ababaka abaakakiiko kano ekyassiddwaako omukono gwa ssentebe Janepher Egunyu Nantume, ababaka baasembye wassibwewo akakiiko k'abakugu okunoonyereza ku kuttibwa kwa Ssebulime kiyambe okukkakkanya emitima gy'abafamire ne Bannayuganda.

Bino biddiridde Ssebulime okuttibwa poliisi ku Ssande oluvannyuma lwa minisita Nantaba okuddukira ku poliisi y'e Naggalama eyasindise abaserikale abaamuwondedde ne kabangali. Abamu ku bantu abaabaddewo nga poliisi etta Ssebulime baategeezezza nti yabadde ku pikipiki n'omuntu omulala era wakati mu kufubutulwa kabangali, pikipiki yaabwe yatomedde akagulumu n'ebakuba, kyokka ne basobola okuddukira mu nsiko era Ssebulime abapoliisi baamukukunudde mu nsiko.

Olwamuggyeeyo ne bamusiba ku mpingu oluvannyuma ne bamukuba amasasi agaamuttiddewo omulambo ne bagusuula ku kabangali.

Ababaka bagambye Minisita Nantaba by'ayogera ne poliisi by'egamba ku kuttibwa kwa Ssebulime tebikwatagana noolwekyo akakiiko ak'abakugu baagala kassibwewo kakole okunoonyereza ku byabaddewo. Bwe kiba nga ddala Ssebulime yabadde mutemu nakyo kitegeerereka, kyokka bw'aba nga baamuttidde bwereere, aba poliisi bakangavvulwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...