TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baddeereva 15 bakwatiddwa ne baggalirwa e Nateete

Baddeereva 15 bakwatiddwa ne baggalirwa e Nateete

Added 27th March 2019

Baddeereva 15 bakwatiddwa ne baggalirwa e Nateete

TTIYAGGAASI anyoose nga poliisi egezaako okutaasa embeera oluvannyuma lw'abagoba ba takisi ne bakondakita okwekalakaasa nga bagamba nti bakooye okukubibwa emiggo kyokka nga poliisi tebafaako.

Bagamba nti ababakuba be bakulembeze okuva mu kibiina kya KOTSA abaasalako ppaaka yaabwe mwe bakolera. Bano baabadde ku luguudo lwe Ntebe mu bitundu by'e Namulanda, Kawuku n'ebifo ebirala era baalabiddwaako nga basimba emmotoka mu nguudo okulemesa takisi endala okuyitawo.

Bakira abasangibwa nga batisse abasaabaze basooka kubalagira kubayiwa. Bano baagambye nti amyuka RDC w'e Ntebe, Hajji Noor Njuki yayimbula abantu be bagamba nti baludde nga babakuba emiggo, kyokka ne bafuna okweyimirirwa ekiro essaawa 5:00 ekintu kye bagamba nti kikyamu nnyo.

Oluvannyuma Hajji Njuki yatuuse okuyingira mu nsonga zino ne bamukwata. Ono yasabye abantu bano okukomya okwekalakaasa era bakome okukuba bannaabwe emiggo nga babagaana okusaabaza abantu oba si ekyo bagenda kusibwa, ekintu ekyabaggye mu mbeera ne bataama.

Wano baatandise okuh− hoola Hajji Njuki nga tebaagala ayogere kintu kyonna. Baamugambye abaviire kubanga y'omu ku bantu abababonyaabonya era ono poliisi ye yamutaasizza ku bantu bano. Oluvannyuma amagye gaayiiriddwa ne batandika okugoba abattakisi oluvannyuma ne batandika okubakubamu ttiyaggaasi era abantu 15 baakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi ye Ntebe.

Rashid Mukasa okuva ku siteegi y'e Ntebe ategeezeezza nti ensonga zino ziva ku kuba nti bakyalemeddwa okulonda obukulembeze obuggya ekintu ky'agamba nti kikyamu kubanga bano abakulembeze be balina babakooye ate nga babayisa bubi nnyo. Yagasseeko nti abakulembeze abaliko mu kiseera kino babadde mu bukulembeze okuva mu 2011 era nga baalina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...