TOP

By'olina okukola okweyigiriza okwefumiitiriza

Added 27th March 2019

By’olina okukola okweyigiriza okwefumiitiriza

OLUVANNYUMA lw'okukizuula nti tuteekwa buteekwa buli lunaku okufunayo akadde ne twefumiitiriza ku bye tukoze, bye twagala okukola n'okutuukira ddala ku biruubirirwa byaffe ku nsi, omukugu Leo Babauta atuyamba n'atwongerayo ku ngeri gye tuyinza okufuula okwefumiitiriza enkola yaffe eya buli lunaku.

Akugamba nti, olw'okuba ebintu bye tukola mu nsi bingi, ebituggya ku mulamwa nabyo buli lukya byeyongera. Kikulu okufuna enkola eneekuyamba buli lukya okusigala ku mulamwa era nga kino abanaakisobola be bajja okutuuka ku buwanguzi.

Jjukira endowooza yaffe egamba nti, omugatte gw'ebintu by'okola buli lunaku gwe gusalawo ky'onoobeera mu nsi. Noolwekyo kikulu buli olukya okwekenneenya ebintu ebitutte obudde bwo osobole okuzuula oba ebiseera byo obimalidde ku bintu ebikutwala mu maaso oba ebikuzza emabega.

Babauta akimanyi nti, ky'ayogerako wadde kiwulikika ng'ekyangu era buli muntu ayinza n'okukugamba nti bulijjo akikola, naye agamba nti si kyangu era atuwa obukodyo bwe tuyinza okweyambisa okusobola okufuula okwefumiitiriza enkola yaffe era bwe buno:

1 Funa essaawa y'emu buli lunaku lw'okola okwefumiitiriza: Kino kijja kukuyamba buli essaawa eyo lw'etuuka okujjukira nti olina okwefumiitiriza. Enkola y'okulowooza nti ojja kukikolera wonna w'oyagalira tejja kukukolera era ne bw'onooba okikoze tojja kukikola mu ngeri ntuufu.

2 Funayo ekikujjukiza buli lunaku: Okusobola okujjukira okukola ekintu ekya buli lunaku si kyangu. Ono ky'ava akuwa amagezi ofuneyo kye weesigamako okujjukira. Okugeza bw'oba musiraamu oyinza okugamba nti, buli lwe mmala emu ku sswala nsembyayo kwefumiitiriza ku bye nkoze oba bye njagala okukola mu lunaku.

Bw'oba mukubi wa dduyiro, oyinza okugamba nti ekintu kye nsembyayo buli lwe mbeera mu ‘jjiimu' oba buli lwe mmala okudduka kwe kwefumiitiriza ku bye nkoze kw'olwo. Kyandibadde kirungi okukikola ng'ogenda okwebaka naye amagezi ago sandigakuwadde kubanga emirundi mingi abasinga obungi mu ffe we tusalirawo okwebaka otulo tuba tutuli bubi nga tetukyayinza kulowooza bulungi.

3 Weemanyiize okuwandiikayo olunyiriri lw'emboozi lumu olunakugamba nti, okuwandiika kutuyamba okulambulula bye tulowooza ate era kutuyamba okuyingiza mu bwongo ebyo bye twagala kubanga olukwata ekkalaamu n'otandika okuwandiika obwongo bwonna bwekuhhaanyizaawo awatali kweyawulayawulamu. Eno y'ensonga lwaki abayizi tubagamba beemanyiize okusoma ebitabo nga bwe bawandiika buli ekikulu kye baagala okujjukira.

4 By'owandiise oyinza okusalawo okubissa mu lujjudde: Akakodyo k'okussa mu lujjudde by'okoze ne by'oyagala okukola kalungi kubanga omuntu yenna gy'afa yenkana ayagala okwesaasira era bangi ku ffe okusobola okukola n'okutuukiriza bye tuteekwa okukola twetaaga atukubiriza, naye olw'okuba olumu weesanga nga by'okola tebiriiko ayinza kukukubiriza kiba kirungi ne weezuulira engeri gy'oyinza okufunamu akikukolera.

Bw'owandiika ekintu mukyalwo n'akiraba, oba mutabaniwo, oba mikwano gyo, oba abakozi, kyangu abantu bano okukujjukiza kye weetema okukola, so nga naawe buli lw'otunula ku kye wateeka mu lujjudde otya okuswala mu maaso gaabo abaakisoma n'ofuba okukissa mu nkola.

5 Kuba dduyiro: Ebimu ku bintu bino bijja kukufaananira kubanga era byonna bikwatagana. Waggulu nakuwadde eby'okulabirako by'ebintu by'oyinza okwesigamako okujjukira era mu byo nataddemu ekya dduyiro ate nzuuno nkomezzaawo ekintu kye kimu. Kyokka ku luno njagala weeyambise akaseera ako kennyini ng'oli mu dduyiro okwefumiitiriza.

6 Lowooza ku lunaku lwo, emirimu gyo ate n'obulamu bwo: Bino bijja kukuyamba okwanguyirwa okwefumiitiriza. Zuula engeri gy'otambuzaamu olunaku, lowooza ku ngeri gy'okozeemu emirimu oba omulimu, era ddayo emabega otunule ku biruubirirwa byo mu bulamu n'engeri gy'oyagala okujjukirwamu mu bantu bo ne mu bantu bonna.

Ebyo bye tuzze twogerako ssinga onoofuba okubissa mu nkola, tojja kukoma ku kukola bya maanyi mu bulamu wabula ojja kufuna obulamu obweyagaza. Tusobola okwongera okuwuliziganya ku mukutu gwa WhatsApp ku 0772407125. ENGERO Z'ABAGAGGA: Obuteeraba bukuvumya akusinga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...