TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko k'omulamuzi Bamugemereire kakyalidde Vision Group efulumya ne Bukedde

Akakiiko k'omulamuzi Bamugemereire kakyalidde Vision Group efulumya ne Bukedde

Added 27th March 2019

AKULIRA Vision Group Robert Kabushenga afulumya ne Bukedde asabye Omulamuzi Catherine Bamugemereire n’akakiiko kaakulira okubuuliriza ku ttaka ly’ekisaawe ky’e Namboole.

 Okuva ku kkono: Kominsona Mary Oduka Achan, Robert Kabushenga akulira Vision Group, Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko, Barbara Kaija omusunsuzi ow’okuntikko owa New Vision ne Kominsona Rose Nakayi. Abalala kuliko: Bakominsona Robert Ssebunnya, Fredrick Ruhindi, George Bagonza, munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya ne Daniel Rutiba omumyuka w’Omuwandiisi w’akakiiko.

Okuva ku kkono: Kominsona Mary Oduka Achan, Robert Kabushenga akulira Vision Group, Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko, Barbara Kaija omusunsuzi ow’okuntikko owa New Vision ne Kominsona Rose Nakayi. Abalala kuliko: Bakominsona Robert Ssebunnya, Fredrick Ruhindi, George Bagonza, munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya ne Daniel Rutiba omumyuka w’Omuwandiisi w’akakiiko.

AKULIRA Vision Group Robert Kabushenga afulumya ne Bukedde asabye Omulamuzi Catherine Bamugemereire n'akakiiko kaakulira okubuuliriza ku ttaka ly'ekisaawe ky'e Namboole.

Agambye nti abakulira ekisaawe bategeeza nti abalitunda bagera ku nkomerero ya wiiki nga ofiisi za gavumenti ziggaddewo nga basalako poloti nga batunda.

Ekisinga okweraliikiriza n'abakulira ekisaawe tebamanyi kyapa kyakyo gye kiri ekiwa ababba ettaka omwagaanya okulitunda era ekiseera kiyinza okutuuka nga Uganda esigazizzaawo ttaka lyokka okutudde ekisaawe nga bwe baalisibako ekikomera.

Kabushenga abyogedde ayaniriza Omulamuzi Bamugemereire n'akakiiko kaakulembera akakyadde ku kitebe kya Vision Group leero ku Lwokusatu.

Bamugemereire yeebazizza New Vision ne Bukedde Olupapula ne TV olw'okuwa abantu abatasobola omwagaanya ne batuusa eddoboozi lyabwe eri ensi n'eriwulira.

Agambye nti ng'ekiseera ekyaweebwa akakiiko kisemberedde okuggwako, beetegefu okukola lipooti ennonnyola akawonvu n'akagga ku bye bazudde.

Kyokka Kabushenga amutegeezezza nti ekisinga okukola obubi kwekubeera nti lipooti bwe zifuluma ne bazikwasa pulezidenti, teziteekebwa mu lujjudde nsi kuzimanya bwe batyo abantu ne basigala nga tebategedde bizuuliddwa.

Omulamuzi n'akakiiko baaniriziddwa Kabushenga ng'ali n'Omukung'aanya ow'okuntikko Barbara Kaija. Babkulembeddemu okulambula emirimu egy'enjawulo okuli ekyapa ekikuba empapula, okutuuka mu sityudiyo za Bukedde FaMa, Xfm, Bukedde TV.

AKAKIIKO BYE KATUSEEKO:

Bamugemereire agambye nti okuva akakiiko lwe kaatandika bafunye emisango egisoba mu 7,000 ng'ebitundu 50 ku 100 kwegyo giri ku kibba ttaka n'okugobaganya abantu.

Bayimirizza okusasula sente za gavumenti eri abantu abakyamu ezisukka mu trillion. Ku bbibiro ly'e Isimba pulezidenti lye yatongozezza wiiki ewedde baayimiria okusasula abantu bbiliyoni 600 abaali bakaayanira enjazi nga kati weziri amazzi gaabikkawo.

Bbiliyoni endala 135 waliwo abagezigezi abaafuna ebyapa mu nnyanja e Luzira nazo baayimiriza okubasasula. Bano baabaza ekifo awayita layini y'amasannyalaze egatta Kampala Industrial Park ne Nammanve Industrial Park.

Waliwo minsita eyafuna ekyapa mu nnyanja e Masaka kya yiika 365 asasuza abantu okugenda ku nyanja eno.

Omu ku bebasanze nga bakaaba kuliko Ssabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga naye ettaka baalimutwalako ne bamulekerawo yiika emu akuumirewo enteeze.

Ettaka ly'ebibira abagezigezi baalifunako ebyapa baali baagala gavumenti ebasasule bbiliyoni 40 buli omu okuligiddiza kyokka kati ebyapa babisazizzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...