MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'amazzi era nga ye mubaka akiikirira Mukono North mu palamenri, Ronald kibuule alangiridde nga bw'agenda okumalawo ebbula ly'amazzi mu kibuga Mukono n'ebyalo ebiriraanyeewo.
Yagambye nti, waakubunyisa amazzi ag'olukale era yataddewo taapu 100 ez'amazzi amayonjo okuva mu kitongole ekibunyisa amazzi amayonjo ekya National Water and Sewerage Corporation, n'asaba meeya George Fred Kagimu okukulemberamu omulimu gw'okunoonya ebifo ebisinga okubaamu abantu abeetaaga amazzi gano.
Kibuule okuwaayo amazzi gano, kiddiridde omuwendo gw'abantu abakozesa amazzi amacaafu e Mukono okweyongera era nga kino kyavudde ku meeya Kagimu okuwanjagira minisita abayambe ku kizibu ky'amazzi oluvannyuma lw'okunoonyereza okulaga nti mu Mukono balina ebifo bibiri byokka abantu gye baggya amazzi amayonjo ng' ebisigadde, amazzi galimu obuwuka okuva mu payipu ezikulukusa kazambi. wansi mu ttaka, n'akulukutira mu kibuga.
Bino byabadde ku kitebe kya munisipaali y'e Mukono Kibuule gy'abadde ayitiddwa ng'omugenyi omukulu ku mukolo ogw'okukwasa ekibuga kino emmotoka eyoola kasasiro eyaguliddwa minisitule y'ebyemirimu, eyawemmense obukadde 530. "Nsazeewo mbawe taapu z'olukale zeetooloole mu kibuga okusobozesa abantu okufuna amazzi amayonjo tukendeeze ne ku muwendo gw'abantu ababadde bafuna obulwadde nga bwekuusa ku mazzi amacaafu." Kibuule bwe yagambye.
Yalangiridde nga bwe wagenda okuteekebwawo kkooti ezigenda okukangavvulanga abo abayitirizza okwonoona obutonde bw'ensi okuli abazimba mu ntobazzi, n'abatema
MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'amazzi era nga ye mubaka akiikirira Mukono North mu palamenri, Ronald kibuule alangiridde nga bw'agenda okumalawo ebbula ly'amazzi mu kibuga Mukono n'ebyalo ebiriraanyeewo.
Yagambye nti, waakubunyisa amazzi ag'olukale era yataddewo taapu 100 ez'amazzi amayonjo okuva mu kitongole ekibunyisa amazzi amayonjo ekya National Water and Sewerage Corporation, n'asaba meeya George Fred Kagimu okukulemberamu omulimu gw'okunoonya ebifo ebisinga okubaamu abantu abeetaaga amazzi gano.
Kibuule okuwaayo amazzi gano, kiddiridde omuwendo gw'abantu abakozesa amazzi amacaafu e Mukono okweyongera era nga kino kyavudde ku meeya Kagimu okuwanjagira minisita abayambe ku kizibu ky'amazzi oluvannyuma lw'okunoonyereza okulaga nti mu Mukono balina ebifo bibiri byokka abantu gye baggya amazzi amayonjo ng' ebisigadde, amazzi galimu obuwuka okuva mu payipu ezikulukusa kazambi. wansi mu ttaka, n'akulukutira mu kibuga.
Bino byabadde ku kitebe kya munisipaali y'e Mukono Kibuule gy'abadde ayitiddwa ng'omugenyi omukulu ku mukolo ogw'okukwasa ekibuga kino emmotoka eyoola kasasiro eyaguliddwa minisitule y'ebyemirimu, eyawemmense obukadde 530.
"Nsazeewo mbawe taapu z'olukale zeetooloole mu kibuga okusobozesa abantu okufuna amazzi amayonjo tukendeeze ne ku muwendo gw'abantu ababadde bafuna obulwadde nga bwekuusa ku mazzi amacaafu." Kibuule bwe yagambye.
Yalangiridde nga bwe wagenda okuteekebwawo kkooti ezigenda okukangavvulanga abo abayitirizza okwonoona obutonde bw'ensi okuli abazimba mu ntobazzi, n'abatemaemiti.
Meeya w'ekibuga kino, George Fred Kagimu yagambye nti, bagenda kufuba okulaba nga bongera omutindo ku kasasiro akungaanyizibwa mu kibuga Mukono, nga baakumweyambisa okumukolamu ebigimusa ebigenda okuyamba abalimi, n'okumukolamu amanda agafumba n'ekigendererwa eky'okukendeeza ku bantu abatema emiti.
"Tubadde nga tukaluubiriziwa okukuηηaanya kasasiro olw'emmotoka enkadde wabula kati tugenda kukuηηaanya awera ate tulabe nga tumufunamu ensimbi zituyambeko mu kutuukiriza emirimu gya munisipaali."Kagimu bwe yagambye