TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Janet Museveni afulumizza ebigezo by'abasoma eby'emikono

Minisita Janet Museveni afulumizza ebigezo by'abasoma eby'emikono

Added 29th March 2019

Minisita Janet Museveni afulumizza ebigezo by'abasoma eby'emikono

 Janet Kataha Museveni ng'afulumywa ebigezo by'abaana abasoma eby'emikono

Janet Kataha Museveni ng'afulumywa ebigezo by'abaana abasoma eby'emikono

MINISITA weby'enjigiriza n'emizannyo mu ggwanga, Janat Kataha Museveni akubirizza bannayuganda bonna abakola eby'emikono abaasoma n'abataasomako wadde, okwegatta  ku bitongole ebigezesa eby'emikono mu ggwanga okuli DIT ne UBTEB bafune amabaluwa agabakakasa  mu byebakola batangaaze emikisa mu mirimu gyabwe.
 
Alaze essanyu olw'omuwendo gw'abaana abawala n'abantu abaliko obulemu okweyongera mu matendekero geby'emikono n'ategeeza nti teri mwana asaanidde kuleka mabega.

Bino minisita Janet Museveni abyogeredde ku ofiisi ya pulezidenti mu  Kampala bw'abadde afulumya ebibuuzo by'abayizi b'amatendekero geby'emikono ebya Nov-Dec 2018, neyeebaza abazadde olw'okwongera okufaayo okusomesa abaana baabwe amasomo geby'emikono naddala abaliana obulemu.

 
Obutafaananako ne bulijjo, ku mulundi guno minisita Janet Museveni afulumizza ebibuuzo bya bitongole bibiri okuli;  ebya UBTEB ( Uganda Business and Technical Examinations Board) eby'omulundi ogwe 14 ne DIT ( Directorate of Industrial Training)ekigezesa abantu abakola eby'emikono abataasoma okufuna ebiwandiiko ebibakakasa mu bukodyo bwabwe eby'omulundi ogwo 8 ng'asoose kulambula midaala abasomye geby'emikono kwebaayoleserezza ebintu byebakola.

Asabye ekitongole kya DIT ekigezesa abakola eby'emikono naye nga tebaasoma, okwongera okubateerawo embeera ebaagazisa n'okubabangula okufuna amabaluwa mu byebakola agamanyiddwa ministule yebyenjigiriza, nga mu kino basaanye okukwata ennyo ku bavubuka naddala abo abataafuna mukisa kugenda ku masomero naabo abaawanduka nga tebannamalako.

 
Yeebazizza ekitongole kya UBTEB olw'amaanyi gebataddemu okutendeka n'okwagazisa abantu amasomo geby'emikono, nga kino kyeyolekera ku muwendo gw'abayizi n'amatendekero ageeyongera entakera ate n'ebyo ebikolebwa, nga kino kyekimu ku biruuirirwa bya Gavumenti okutendeka ba nna Uganda mu bukodyo obubayamba okwebeezaawo mu bulamu nga bayita mu nkola ya Skilling Uganda.

Abayizi 71,091 beebatuula ebibuuzo by a UBTEB omwaka oguwedde 2018, nga bano beeyongeddeko bwogeraageranya nabayizi 64,510 abatuula mu 2017.

Ate abayizi 45,957 bebeewandiisa okukola ebibuuzo by a DIT ku mitendera esatu; Level I, II ne III okuva mu ssenta 1006.
 
Oluvannyuma asiimye amatendekero n'abantu abakoze ekyenjawulo okutumbula geby'emikono mu ggwanga n'abakwasa amabaluwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...