TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bassentebe ba LC mu Kampala basabye Gav't ebatwale e Kyankwanzi

Bassentebe ba LC mu Kampala basabye Gav't ebatwale e Kyankwanzi

Added 31st March 2019

BASSENTEBE ba LC mu Kampala basabye Gavumenti okubatwala e Kyankwanzi babangulwe mu byobukulembeze.

 Amina Lukanga akulira ba LC mu Kam- Abantu bye boogera pala ( ku ddyo) ng’abuuza ku RCC wa Kampala Farida Mayanja. Amuddiridde ye Col. Kaka n’omuduumizi wa poliisi mu Kampala, Moses Kafeero.

Amina Lukanga akulira ba LC mu Kam- Abantu bye boogera pala ( ku ddyo) ng’abuuza ku RCC wa Kampala Farida Mayanja. Amuddiridde ye Col. Kaka n’omuduumizi wa poliisi mu Kampala, Moses Kafeero.

Abakulembeze ku bukiiko bw'ebyalo mu munisipaali za Kampala okuli; Nakawa, Makindye, Kawempe, Kampala Central ne Lubaga baakuhhaanidde ku kisaawe kya Old Kampala S.S.S okusala amagezi ku ngeri gye basobola okunyweza ebyokwerinda mu bitundu byabwe.

Olukiiko luno lwayitiddwa dayirekita wa ISO Col. Frank Kaka Bagyenda, omuduumizi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Moses Kafeero ne RCC wa Kampala Faridah Mayanja.

Akulira bassentebe mu Kampala, Amina Lukanga yasomye ekiwandiiko mwe baasabidde Gavumenti okubatwala e Kyankwanzi babangulwe mu byobufuzi, okubawa ensako baleke okukemebwa olw'obusente abaagala okubeeyambisa olw'ebigendererwa byabwe bwe babawa n'okuteeka amaanyi mu SACCO yaabwe.

Baagambye nti, bafuba okunyweza ebyokwerinda naye basasulwa bululu ekibamalamu amaanyi nga bagamba nti Gavumenti ku ssente z'ewa ababaka ba Palamenti ne bakansala abatatuuka wansi mu bantu nabo basaana babeeko omutemwa ogubaweebwa kubanga bakola omulimu munene.

Bagamba nti Gavumenti ebeeyambisizza mu nsonga zaayo omuli okunyweza ebyokwerinda n'okukunga abantu okwenyigira mu nteekateeka zaayo ez'enjawulo wabula bwe kituuka mu byokufuna babaleka bbali.

Abakulembeze bagamba nti bakooye okukolera ku malusu ng'ate Gavumenti teyinza kuyimirirawo.

Bagamba nti nga Gavumenti bwe yaggyawo ensimbi ebitundu 10 ku buli 100 ze baali bafuna ku batunda ettaka mu bitundu byabwe yalina okubateerawo engeri endala gye balina okufunamu ssente ez'okweyimirizaawo baleme kwenyigira mu bufere olw'obwavu.

Lukanga yasabye Col. Kaka okubakolera enteekateeka okusisinkana Pulezidenti bamunnyonnyole ensonga zaabwe kubanga enfunda nnyingi balekeddwa bbali mu nteekateeka za Gavumenti ez'okwekulaakulanya.

Col. Kaka mu kubaanukula ku nsonga y'omusaala, yabasabye okubeera abakkakkamu basigale nga bakola awatali kweganya n'ategeeza nti singa banaanyweza ebyokwerinda mu bitundu byabwe, emirimu gijja kutamubula bulungi awatali kutaataaganyizibwa.

N'agamba nti buli ebyokwerinda bwe binaabeera ebinywevu n'eggwanika ly'eggwanga teriyinza kubulwa nsimbi za kubasasula.

Mu ngeri y'emu Col. Kaka yabawadde amagezi okwekolamu ebibiina by'obwegassi n'agamba nti kyakubayamba okufuna obuyambi okuva mu Gavumenti basobole okweggya mu bwavu nga bwe balinda okuweebwa ensako.

Col. Kaka era yasinzidde mu lukuhhaana luno n'asaba abakulembeze b'ebyalo mu Kampala okukolagana n'ebitongole ebikuumaddembe nga baloopa abamenyi b'amateeka omuli; abanywi b'enjaga, abakwata abakazi, abakuba abantu obutayimbwa emisana ttuku.

Yabategeezezza ng'abakulembeze bwe batalina kusuulirira buvunaanyizibwa bwabwe kubanga ebyokwerinda bibakwatako butereevu nga tebalina kwesisiggiriza.

Omuduumira wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Moses Kafeero yeebazizza abakulembeze b'ebyalo olw'okubayambako okulwanyisa obuzzi bw'emisanga n'abasaba obutaddiriza nkolagana eno.

Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Hajjat Faridah Mayanja Mpiima yalabudde abakulembeze b'ebyalo, okukomya okussa emikono ku ndagaano ezigula n'okutunda ettaka ly'entobazzi.

N'abasaba okuzzaawo kkooti z'ebyalo ze yagambye nti zaayambanga okutaawulula enkaayana ku byalo n'okukendeeza emisango egitwalibwa mu kkooti eza waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...