TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ISO ekutte abalala 2 abaatema omugagga wa Romi Wine

ISO ekutte abalala 2 abaatema omugagga wa Romi Wine

Added 31st March 2019

BAMBEGA b’ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO bakutte abasajja abalala babiri abagambibwa okuyingirira omugagga wa Romi Wine, Robert Migadde mu maka ge e Kyengera – Kazinga ne bamutemaatema.

Abaakwatiddwa kuliko; Geoffrey Abarigye ne Isaac Ssentamu ku bigambibwa nti nga February 18 , omwaka guno baayingirira omugagga Migadde ne bamutemaatema ne bamuleka ng'ataawa.

Ennumba gye baamulumbamu, agamba nti yali ya kikugu nnyo nga teyasobola wadde okweyambisa emmundu ye okwerwanako.

Abarigye ne Ssentamu, ISO yabakwatidde mu Kampala oluvannyuma lw'okutemezebwako abakessi baayo.

Okusinziira ku nsonda mu ISO, Abarigye ne Ssentamu bakkirizza okuyingirira Migadde ne bamutema nga bamwagalako ssente n'ebintu ebirala ebikalu.

Ababiri bano, bakuumirwa mu kaduukulu ka ISO mwekuumira abasibe baayo mu Kampala ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, okusinziira ku bye baakakung'aanya ku basajja bano, be baatema Migadde era bwe banaaba bamaze okunoonyereza bajja kubakwasa poliisi ebatwale mu kkooti.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, baakakwata abantu basatu abali mu kaduukulu k'ekitongole kyabwe ekikola okunoonyereza ku misango eminene ekya Special Investigations Division (SID) e Kireka.

Yagasseeko nti, waliwo abalala babiri be bakyanoonya abaali mu bulumbaganyi buno era we babakwatira, fayiro yaabwe ejja kusindikibwa ew'omuwaabiwa wa Gavumenti batwalibwe mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo