
Bagamba nti olugendo okuva e Luzira okutuuka e Mpata lwa ddakiika 7 ku 10 mu lyato ery'embaawo erya yingini ate okuva e Mpata okuyunga ku luguudo lwa Mukono -Katosi olwa kkolaasi n'okukudda e Ntenjeru n'okweyongerayo kitwala ekiseera kitono bw'ogeraageranya n'okuyita ku luguudo lwa Jinja Road okuva mu Kampala.
Patrick Sajjambi ssentebe w'e ggombolola y'e Mpata mu Mukono yagambye ekitongole kya UNRA mu minisitule y'Ebyenguudo n'Entambula bandibadde bakola okunoonyereza ku nsonga eno okusobola okuwewula ku bantu.