TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nange Nantaba lumu yampedulira abajaasi ng'ampita mutujju - Maj. Galabuzi

Nange Nantaba lumu yampedulira abajaasi ng'ampita mutujju - Maj. Galabuzi

Added 31st March 2019

OMUTUUZE era muliraanwa wa minisita Idah Nantaba e Namugongo naye avuddeyo n’amulumiriza ng’olunaku olumu bwe yamusindikira abakuumi be ng’amuyita omutujju ng’agenderera okumutuusaako obulabe.

 Maj. Galabuzi

Maj. Galabuzi

Maj. Musisi Galabuzi yannyonnyodde nti, Nantaba yagula ekitundu ku ttaka ly'ekika kyabwe e Namugongo era n'azimbamu amayumba ge aga kalina okumuliraana.

Galabuzi naye omutaka w'e Namugongo - Bulooli agamba nti olumu yali ava ku dduuka ng'adda awaka akawungeezi ng'atambuza ebigere kyamubuukako abasajja babiri okubuuka mu mmotoka nga balina emmundu ne bamussa ku nninga okubannyonnyola by'atwala mu buveera.

Agamba nti aba akyali awo agenda okuwulira nga minisita ali mu mmotoka ayogerera waggulu nti, omusajja oyo mutujju mumukwate naye mu kwerwanako n'abategeeza nti, bwe yali agenda mu makaage ng'ava ku mulimu era bagenda okukebera obuveera nga mulimu sukaali na mugaati bye yali akomyewo nabyo awaka.

Yagambye nti bwe yawulidde enjega eno ng'eguddewo eyafiiriddemu Ronald Sebulime ate nga ne minisita Nantaba amuwuliddemu n'emujjukiza olunaku minisita lwe yamusindikira abasajja be abamukuuma bamukwate ng'amuyita omutujju.

Galabuzi yagambye nti ebyo byamutuukako mu February w'omwaka guno era kyamwewuunyisizza okuwulira nti, mu bbanga lya mwezi gumu waliwo omuntu afiiridde mu mbeera y'emu Nantaba gye yali amutaddemu.

Yagasseeko nti, Nantaba ataddewo embeera nti waliwo abantu abaagala okumutuusaako obulabe gy'ebikkidde ng'omusajja atalina musango alufiiriddemuate ye n'asigala nga yeewaana.

Galabuzi yawadde Nataba amagenzi okwekuba mu kifuba alowooze ekyabaddewo n'ebyo poliisi by'ezudde yeetondere abooluganda lwa Ssebulime n'abaana be yadde ssi ye yasse naye byonna okutuukawo byavudde ku ye.g

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...