TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obunkenke nga minisita alambula ettaka ly'e Kiruddu erikaayanirwa

Obunkenke nga minisita alambula ettaka ly'e Kiruddu erikaayanirwa

Added 1st April 2019

Obunkenke nga minisita alambula ettaka ly’e Kiruddu erikaayanirwa

 Minisita Namugwanya (wakati) ne meeya Mulyanyama nga bawuliriza ensonga za Lwanga (mu ssaati ey’ebikuubo).

Minisita Namugwanya (wakati) ne meeya Mulyanyama nga bawuliriza ensonga za Lwanga (mu ssaati ey’ebikuubo).

AMAGYE ne poliisi biyiiriddwa mu bungi ku ttaka ly'e Kiruddu eririko enkaayana wakati wa Mmengo n'Omulangira David Namugala gavumenti ly'eyagala okugula ezimbeko ekifo eky'omulembe omukuhhaanira kazambi.

Amagye okuyiibwa ku ttaka lino, Minisita wa Kampala omubeezi, Penny Bugembe Namugwanya yabadde agenzeeyo okulirambuzibwa abakungu ba Buganda Land Board (BLB) abagamba nti be balivunaanyizibwako ku lwa Mmengo.

Bwe yabadde tannagenda ku ttaka lino, Minisita Namugwanya yasoose mu lukiiko ku ddwaaliro olwetabiddwaamu aba BLB, RCC wa Makindye, Ibrahim Kagorora, Meeya wa Makindye Ali Mulyanyama, abakulira eddwaaliro lya Kiruddu, abakungu okuva mu minisitule y'amazzi n'abakulembeze ba Valley zooni ettaka lino mwe amawulire Mmande April 1, 2019 Bukedde 7 lisangibwa.

Aba Buganda land board abaakulembeddwaamu Simon Kaboggoza, baategeezezza Minisita Namugwanya nti bwe baawulira omulanga gwa gavumenti okutaasa abatuuze b'e Kiruddu ekivundu, kwe kuvaayo bagudduukirire nga bawaayo ettaka lino erya yiika ebbiri n'ekitundu kubanga teririiko basenze.

Minisita yagambye nti kikyamu bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya okulemesa enteekateeka za gavumenti z'eba ereese okutaasa abantu baayo ate nga baba beenoonyeza byabwe.

Oluvannyuma lw'olukiiko luno olwakulungudde essaawa bbiri, Minisita yasabye aba BLB bamutwale ku ttaka bamulage we liyita wabula baabadde bagenda okulituukako, ne wafubutukayo omusajja eyategeerekese nga Stephen Lwanga ne yeesimba Minisita mu maaso n'agezaako okumulemesa okweyongerayo.

Waabaddewo akanyoolagano ng'abaserikale abakuuma minisita bagezaako okusikawo Lwanga kyokka minisita n'abasaba bamuleke amubuulire ky'ayagala. Lwanga yategeezezza Minisita nti ettaka lino eryogerwako alirinako obwannannyini bw'ekibanja nti era n'aba Buganda land board bamanyi bulungi obusenze bwe kubanga be baamuwa n'ebiwandiiko ebirikwatako.

Yannyonnyodde Minisita nti abo bonna abamugamba nti ettaka eryo tekuli batuuze bamulimba kubanga ye (Lwanga) alirinako ekibanja kye yagula mu 2017 ku bukadde 250 ne bwino amulina. Mu kumwanukula, Namugwanya yamusabye amutwalire ebiwandiiko mu ofiisi ye abitunulemu n'oluvannyuma alabe eky'okumukolera kyokka n'amugaana okwekiika mu pulojekiti eno.

Ssentebe w'ekitundu kino, Ssaalongo Haruna Ssempereza yasabye Minisita nti, gavumenti esooke esasule abantu abagenda okukosebwa ng'ekinnya kino kizimbibwa. "Minisita, tuli basanyufu olw'okujjako wano, ekinnya kino tukyagala naye tusaba musooke musasule abatuuze baffe kubanga buli ali ku ttaka lino aliko mu butuufu," Ssempereza bwe yategeezezza.

Kyokka gye buvuddeko mu lukiiko lw'ekyalo mu kitundu kino, waaliwo abantu abaagamba nti, bakiikirira Omulangira Namugala ne bategeeza ng'ettaka lino bwe liri erya Estate ya Ssekabaka Daudi Chwa ng'omuntu nti era mu kiseera kino y'alirinako obuyinza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...