TOP

Aba Owino batandise okuzimba aw'okusengukira

Added 1st April 2019

Aba Owino batandise okuzimba aw’okusengukira

 Minisita Kamya (mu kitengi), Ssonko ne Kasiita (ku ddyo) ku mukolo gw’okutema evvuunike.

Minisita Kamya (mu kitengi), Ssonko ne Kasiita (ku ddyo) ku mukolo gw’okutema evvuunike.

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe (Owino) batandise ku nteekateeka ez'okwezimbira akatale ak'omulembe akamaze emyaka nga kabawuuba. Enteekateeka zaatandise n'okutema evvuunike okuzimba ekifo eky'omulembe we bagenda okusengukira.

Minisita wa Kampala Beti Kamya ye yakoze omukolo ogw'okutema evvuunike ku Lwokutaano. Baabadde mu Kakajjo zooni okutuukiriza akakwakkulizo akaabalagirwa mu ndagaano nti nga tebannamenyawo katale, bateekwa okuba n'ekifo kwe basengulira abasuubuzi. Ettaka liri ku poloti ssatu okuli nnamba 1431, 1339 ne 1081 mu Kisenyi.

Minisita Kamya eyabadde omugenyi omukulu yategeezezza nti ayagala ensonga za St. Balikuddembe zimalirizibwe era obubinja obubadde butakwatagana ne kkampuni ya St. Balikuddembe Market Stall, Space and Lockup shops Owners Association Ltd (SSLOA) banguwe bagyegatteko tekyali kudda mabega. "Nze siwagira mwe bakulembeze ba SSLOA ng'abantu naye mpagira mazima n'obwerufu bwe mukozesezza okutuusa pulojekiti yammwe wano weeri kati, " Kamya bwe yagambye.

Yagambye nti enkulaakulana gye bayaayaanira Gavumenti yeesinga okugyagala abantu beekulaakulanye. Yategeezezza nti Gavumenti essaawo embeera ennungi esobozesa abantu okukola ne bagaggawala era musanyufu okulaba nti aba St. Balikuddembe bakulaakulana buli lunaku. Yasembye abasuubuzi batandike okuzimba naye nga bagoberere emitendera gya KCCA gyonna.

Akulira obutale n'ekikula ky'abantu mu Kampala, Harriet Mudondo eyabaddewo ku lwa dayirekita Andrew Kitaka, yagambye nti bakoze okunoonyereza okumala ne bakakasa nti aba SSLOA batuufu.

Atwala ebyokuzimba mu Kampala Central, Villey Agaba yagambye nti Gavumenti eyagala okukulaakulanya Kisenyi era awagira entegeka yonna egenderera okuzimba akatale n'ekizimbe eky'omulembe mu Kisenyi kubanga kigenda kusitula ekitundu.

Omumyuka wa Ssentebe, Peter Livingstone Ssenyonjo eyabaddewo ku lwa ssentebe Godfrey Kayongo Nkajja eyagenda mu Amerika yasomye lipooti eyabaddemu okusiima Pulezidenti Museveni ne Gavumenti okubaguza ettaka ly'akatale mu nkola ya liizi era balina ebyapa bitaano okuli Poloti 24, M34, 20A-22A ne 99 ya myaka 99 egya liizi.

Yagambye nti baagula ettaka lino okutuukiriza akakwakkulizo nti nga tonnaba kutandika kuzimba, oteekwa okuba n'ekifo okusengukira abasuubuzi. Beewola ssente mu Bbanka ya DFCU ne bagula ettaka lino. Yannyonnyodde nti olw'olutalo olubaddewo, bbanka ettaka yali eritwala naye bakkiriziganya nayo era batambula bulungi.

Ssenyonjo yagambye nti okuzimba mu Kisenyi bakibaliridde wamu n'okuzimba akatale konna nga basuubira okubatwalako obukadde bwa doola 35 kyokka nti bazibaliridde kuzifuna mu mitendera nga basookedde mu Kisenyi bazimbeyo emyaliiro mukaaga oluvannyuma baddeko akatale.

DFCU YEEYAMYE KU SSENTE Aba bbanka ya DFCU abaakuliddwa Stuart Mark Ssonko baategeezezza nti kati bakolagana bulungi n'abasuubuzi era bagenda kubongera ssente ezizimba nga bwe baabawa ezaagula ettaka singa baba bazaagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...