TOP

Abali awafunda mulunde ente z'omu biyumba

Added 1st April 2019

Abali awafunda mulunde ente z’omu biyumba

 Zainah Nampijja (ku kkono) ng’asomesa abalunzi engeri y’okulisaamu ente ne bagifunamu amata nga mangi.

Zainah Nampijja (ku kkono) ng’asomesa abalunzi engeri y’okulisaamu ente ne bagifunamu amata nga mangi.

ABANTU okuba nga bakyalemedde mu bwavu kivudde ku ndowooza zaabwe ezijjudde obugayaavu nga buli kintu tukitunuulira ng'ekitasoboka kubaawo ate ne balemwa n'okwegomba abo abalina bye bakoze wabula ne basigaza kintu kimu kwekubagiza.

Ebigambo ebyo byayogeddwa Dr. Jolly Kabirizi, omukugu mu kunoonyereza ku byobulimi n'obulunzi bwe yabadde ategese omusomo gw'okubangula abalunzi ku ngeri gye basobola okulunda ente z'omu biyumba naddala mu bifo ebifunda oba mu bifo ebiri mu bibuga.

Omusomo guno gwayindidde Sseguku ku luguudo lw'e Ntebbe mu ggombolola y'e Makindye ku ffaamu ya Dr. Jolly Kabirizi eyitibwa Kyakuwa Farm nga yatandikibwawo mu 1990. Kuliko ente z'amata, enkoko, ebyennyanja ebirimibwa mu bipipa, n'okukolerako omuddo ogw'ebisolo ogw'enjawulo.Omusomo guno gwabaddewo ku lunaku lw'abakyala nga gwe mulundi ogwabadde ogwokubiri okutegekebwa nga gwasooka kubaawo mwaka guwedde.

Dr. Kabirizi yagambye nti, ensonga lwaki ntegeka omusomo bweguti ku lunaku lw'abakyala njagala abakyala bandabireko ate n'okwongera okubaagazisa okukola baveemu omutima ogw'obugayaavu. Njgala baleme kulowooza nti buli kimu balina kukifuna kuva mu baami baabwe nga ne bw'oba osigala waka osobola okweyambisa awantu awatono w'olina n'obaako ebintu by'okolerawo ate n'ofunamu ssente ne zibayamba okwongera okwekulaakulanya nga famire.   

Y'OLINA OKUGOBERERA NG'OGENDA KULUNDA ENTE Z'OMU BIYUMBA EWAFUNDA

Dr. Kabirizi agamba nti; 1. Bw'oba tonnatandika kulunda nte zino sooka ofeeyo ku bukuumi bw'awaka woogenda okuzirundira kubanga ente zino zigula ssente nnyingi ssinga tosooka kuteeka bukuumi mu kifo kyo, kyangu okuzikubbako n'ofiirwa ssente ate n'eby'okulunda ne bikutama.

2. Lunda ente nga zigya mu kifo kyolina, bw'oba w'olina wasobola kugendawo nte bbiri z'oba olunda so sikuteekawo nte nnyingi nga tezirina we zeeyagalira kubanga ente terina njawulo n'abantu noolwekyo eba yeetaaga awantu wesobola okweyagalira obulungi.

3. Zimba ekiyumba nga kiriko ebifo eby'enjawulo ente by'erina okukozesa okugeza okusula awamu n'okuliira.

4. Fuba okulowooleza obusa n'omusulo awantu we bisobola okugenda nga tebijja kukola bucaafu ate bunyigirize abantu abakuliraanye era fuba okulaba nga faamu yo tebaako nsowera zitaataaganya baliraanwa bo.

5. Sooka omanye ebyokulya by'ente we bigenda okuva kuba bw'omaliriza okugiteeka mu kiyumba tekyetaagisa nte kuleekanira bantu bakuliraanye kubanga olwo ob'ogenda kutondawo embeera etali nnungi wakati wo ne bano 

EBITARINA KUBULA KU KIYUMBA   

 Ekiyumba ekiri ku mutindo omulungi ekisobola okubeeramu ente n'ekuwa bulungi ky'oyagala kirina okubaamu obusenge nga bulimu obutto ente kw'esula oba essubi wansi, ente erina okuba ne wetambulira okufuna omu-sana, w'ewummulirako ssinga eba ekooye okuyimirira oba okulya, ekiyumba kirina okubaako ente mw'eriira ate ne mw'enywera amazzi waakiri buli lunaku ebidomola by'amazzi bisatu n'okusingawo.

l Ekiyumba kirina okuteekebwako ekifo ewakamirwa nga kyanjawulo n'ebifo biri ebirala, obuyana webusula, teekako ekifo w'ofuuyirira ng'osobola n'okweyambisaawo ng'ogiwa obujjanjabo obutali bumu. l Ebimu ku by'otasobola kubuusa maaso ng'ozimba ekiyumba ye sitoowa w'otereka ebintu byonna by'okozesa nga n'omuddo osobola okuguterekawo n'ekinnya w'oteeka obusa n'omusulo we gugenda.   By'ofunamu ssente ng'olun ze ente     

Dr. kabirizi ayongera n'agamba nti, bw'olunda ente ofunamu ebintu bingi ng'ekisooka ofuna amata bw'oba ogirabiridde bulungi buli lunaku osobola okukama liita 30 mu nte emu n'okusingawo.

Ofuna ssente mu nnyana ezikuze kubanga si buli nte ezaalibwa nti oba osobola okugirunda olw'ekifo ekifunda ky'okoleramu emirimu gyo, ate nga n'obusa n'omusulo obifuniramu ddala ssente nti bw'oba tobikozesezza kulima bintu bibyo obiguza abantu abalala ne bakuwaamu ssente. Abantu bajja n'obasomeseza ku faamu yo ne bakusasula ssente zonna z'oyagala. 

 ENGERI GY'OLIISA ENTE EY'AMATA 

   Zainah Nampijja okuva mu kibiina ky'abavubuka, twekembe e Sseguku nga kikola buli kika kya muddo ogulisibwa ente n'ebisolo ebirala. agamba nti, bw'oba osazeewo kulunda nte kugifunamu ssente ng'oyita mu mata, kola ekisoboka ogiriise buli kyetaagisa.

Ebintu ebisinga okuba ebikulu by'olina okweyambisa ng'oliisa ente okuwa amata mu bungi, amazzi kikulu era omulunzi yenna ente togipimira mazzi g'olina kugiwa kubanga enkulu omubiri gwayo ebitundu 50 ku 100 galina kuba mazzi ate bw'eba ng'ekyali nto ebitundu 70 oba 80 ku 100 gaba mazzi nga noolwekyo buli lw'efuna amazzi amangi omubiri guba gukola bulungi.

Ente olina okugiwa ebiriisa nga birimu ebirungo ebizimba omubiri, ebirungo ebiwa omubiri amaanyi n'emmere ng'erimu vitamiini kiyambe omubiri okuba nga gutambulira wamu. Emmere erimu ebintu ebyo bw'ogiwa ente tesobola kulemwa kukuwa mata gawera waakiri bulilunaku liita 30.

Osobola okulima kasooli n'omukungula kasita atandika okuleeta amata mu mpeke n'omutema n'omuwa ente ne zimulya, osobola okukaza omuddo n'ogukolamu ebibulooka ng'otabuddemu sukaali ggulu nabyo bikola bulungi n'ebirala.   

ENGERI GY'OSO BOLA OKULIMA OMUDDO N'OFUNA SS ENTE   

Vincent Lutwama akulira ekibiina kya Bavubuka Twekembe ekisangibwa e Sseguku yasomeseza ku ngeri y'okulima omuddo n'ogufunamu ssente. Bw'oba osimba omuddo ng'oyagala ogufunemu ssente ebintu bino wammanga bikulu;

  1. Londa ekika ky'omuddo ekisobola okugumira embeera okusinziira w'ogenda okugulimira.
  2. 2. Obujimu bw'ettaka kikulu nnyo era bwe liba nga si ddungi kimala, ssooka oliwe ebiriisa naddala obusa omuddo gwo gusobole okuvaamu nga gwa mulembe ekimala. 3. Ekika ky'ensigo ky'osimba ssooka okigezese nga tonnasimba musiri gwonna, bw'ogezesa ensiko 100 n'otawezaako nsigo 70 zimeze omanya nti si nnungi era tezijja kukukolera.
  3. 4. Manya obungi bw'ensigo bw'ogenda okusimba n'engeri gy'ogenda okuzisimbamu.
  4. 5. ziwe amabanga okusinziira ku kika ky'ensigo ky'ogenda okusimba, bwe ziba nga tegusakaatira nga gukuze guwe amabanga matonotono ate bwe ziba nga zisakaatira teekawo amabanga nga gawerako. Bw'eba yiika nga gy'osimbye osobola okuteekamu ebijimusa ebya Nitrogen kkiro 50 -100 okusinziira ku ttaka nga bwe lifaanana, ebijimusa bino biteekemu oluvannyuma lw'okusima ekinnya nga tonnateekamu ndokwa oba nsigo gy'ogenda kusimba.
  5. Bw'oba osimbye omuddo ng'oyagalako ensigo okusinga bw'olaba obunyonyi nga butandise okugugwamu buli kiseera olwo ng'omanya nti ensigo zikuze era ng'otandika okuzikungula ku bikolo, bw'omaliriza okuzaawula mu bisusunku zaanike zikale bulungi n'oluvannyuma zitereke mu kifo ekirungi obuwuka we butasobolera kuzitaataaganya. Ssente weeziri mu muddo Bw'okaza ensigo n'ozitunda ofunira ddala ssente mu balunzi ababa baagala okugulima, omuddo osobola okugukaza n'ogutunda era abalunzi bagugula. Osobola okukola bu bbagiya okuva mu muddo n'obupakinga mu kaveera n'obutundira mu kiro era n'ofuna ssente. Omuddo gukola ebijimusa ebyeyambisibwa mu kulima ebintu ebitali bimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...