TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okusiiba tuleme kukwesigamya ku butyala mmere kyokka

Okusiiba tuleme kukwesigamya ku butyala mmere kyokka

Added 1st April 2019

OKUSIIBA y’emu ku mpagi enkulu eziggyayo omulamwa n’ebigendererwa by’obudde bwa Kalema.

 Abakristu bajjumbira okusaba mu kisiibo Omukama abasaasire.

Abakristu bajjumbira okusaba mu kisiibo Omukama abasaasire.

Okusiiba kuyamba Omukristu okuva mu mbeera ey'okwesanyusa n'okwekkusa ne yeerumya ekyo n'ekimuyamba okulowooza ku balala abali obubi, n'okussa ebirowoozo bye ku Katonda.

Wabula waliwo Abakristu abamu, Eklezia beewa olukusa obutasiiba.

Mu bano mulimu abakadde, abalwadde, abali embuto n'abaana abali wansi w'emyaka 14.

Faaza David Kizito agamba nti Bamaama abalina embuto, embeera ebeetagisa okulya, okusobola okubeera abalamu obulungi, n'okuliikiriza abaana be baba beetisse mu mbuto zaabwe. Abakyala abayonsa nabo bandibadde tebasiiba.

Abantu abalina endwadde enzibu, okugeza aba alusa, nabo tebasiiba. Abaana abali wansi w'emyaka 14 nabo embeera y'obutalya ebakosa nnyo, era nabo tebawalirizibwa kusiiba,.

Wabula okusiiba emmere ssi y'engeri yokkka ey'okukuza Ekisiibo era abantu abagwa mu biti bino, basobola okufunayo ebintu bye basiiba, ebitali mmere.

"Buli kintu kye tukola mu Kisiibo kigendererwamu kutuyamba kuzza buggya nkolagana yaffe ne Katonda. Oyo atasobodde kusiiba mmere waakiri asiibe empisa ze embi n'ebikolwa ebibi ebituggya ku mateeka 10.

Kuno kwe kusiiba Katonda waffe kw'atugamba mu Yisaaya 58:1-6.

Tuve mu bugwenyufu, ggwe wamma era tulekeraawo n'okunyigiriza bannaffe," Faaza Kizito bwe yakkaatirizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...