
Abasuubuzi nga baliko bye bannyonnyola ofiisa wa poliisi Tukundane e Lukaya
ENTAMBULA yasannyaladde e Lukaya ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala, abasuubuzi b'ente bwe baavudde mu mbeera ne bakiika loole zaabwe mu kkubo nga bawakanya okuggyibwako ssente nga tebasoose kunnyonnyolwa kye zigenda kukola.
Abasuubuzi abaavudde e Mbarara, Lyantonde, Ssembabule ne Mutukula nga bakulembeddwaamu Frank Tugume, Julius Kafuuzi, Peter Kabangala obwedda balumiriza Barnabas Lugyendo avunaanyizibwa ku bisolo nti buli mmotoka agiggyako wakati wa 5,000/- ne 10,000/- okugikkiriza okuyingira mu Kampala.
Akulira poliisi y'e Kalungu Abrahams Tukundane n'akulira ey'ebidduka Victor Tumwebaze baasanze akaseera akazibu okukkakkanya abasuubuzi n'okubamatiza okuggya emmotoka zaabwe mu luguudo.