TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ayambala yunifoomu ya poliisi n'abba pikipiki bamukutte

Ayambala yunifoomu ya poliisi n'abba pikipiki bamukutte

Added 1st April 2019

Ssekayiri ku yunifoomu yateekako linnya lye ne nnamba enjingirire 00668 okusobola okukakasa abantu nti wa poliisi mutuufu.

 Ssekayiri eyakwatiddwa ng'ali mu yunifoomu ya poliisi.

Ssekayiri eyakwatiddwa ng'ali mu yunifoomu ya poliisi.

OMUSAJJA eyeefuula owa poliisi n'abba bodaboda n'okukola ebikwekweto n'abba abantu mu bitundu bya Kampala  bamukutte lubona  mu yunifoomu ya poliisi ng'alina gw'ayagala okubbako pikipiki ng'amuvunaana okutikka akabindo  

Ku Lwomukaaga  ekiro akulira poliisi y'oku Kaleerwe, Twair Kasembeza ng'ayambibwako amagye baakutte Godfrey Sekayiri    ng'ali mu byambalo bya poliisi alina owa bodaboda gw'akutte ng'amuvunaana okutikka akabindo k'abantu basatu. Wabula abaserikale abalawuna baamwekengedde ne bamukwata .

Ssekayiri  ku yunifoomu yateekako linnya lye  ne nnamba enjingirire  00668  okusobola okukakasa abantu nti wa poliisi mutuufu.  Mu kwewoozaako yategeezezza nti yali  Guide wa takisi e Wandegeya bwe yalaba ssente ntono n'asalawo okubba yunifoomu  n'engatto okulaba ng'afuna ssente

Juliet Nantege omu ku basuubuzi  ewa Mambule  yategeezezza nti Ssekayiri  bulijjo bamulaba mu yunifoomu ya poliisi ng'oluusi atambulira ku pikipiki ne muserikale munne nga babadde bamanyi  wa poliisi  mutuufu. Yagasseeko nti waliwo lw'abeera n'abavubuka abali mu ngoye eza bulijjo nga bagenda bakwata abantu abatambula ekiro wabula tebabatuusa ku poliisi babaggyamu ssente.

Sulaiman Busulwa ssentebe wa Kibe zooni yategeezezza nti ku Lwokutaano  ba ssentebe ba LC   baali mu lukiiko ne DPC w'e Wandegeya, SP Ochaki  n'abategeezza  ku bubbi  bwa bodaboda obupya ng'ababbi balina ebyambalo bya poliisi nga bakwata aba bodaboda abatalina bikofiira, pamiti  n'abatisse akabindo ne babaggyako pikipiki ne babagamba nti bazitwala ku poliisi n'ekigendererwa  ky'okuzibba.

Ekibinja ky'ababbi  tekikoma kubba pikipiki  wabula kikola n'ebikwekweto mu bitundu okuli  Mulago, Kazo, Kyebando, Mpeererwe, Kawempe Ttula, Nammere, Komamboga nga ne bakwata abantu ne babaggyamu ssente ne batabatuusa ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...